Bya Stephen Kulubasi
Kasubi – Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti omulimu gw’okumaliriza Amasiro si mutene era guliko emisoso egiwera era gwetaagisa ssente eziwera. Okwogera bino owoomumbuga yasinzidde mu masiro e Kasubi ku mukolo gw’okutereka omubiri gw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamaanya eyaseerera ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti ewedde.

“Abamu balowooza okuzimba amasiro kiringa kuzimba zino Masengere, n’akatono. Era mmwe abalowooza nti byanema muswadde, kubanga tebitulemanga naye omulimu bwegutyo bwegufaanana era bakola buli lunaku.” Owek. Mayiga bwe yagambye.
Katikkiro Mayiga yannyonnyodde nti omulimu gw’okuzimba amasiro gugenda mu maaso era we guli gunaatera okuggwa era ne yeebaza abo abakoze buli kimu okulaba ng’omulimu guno gutambula bulungi.
Kamalabyonna yasiimye Omulangira Ssimbwa olw’okubeera olujegere olunyweza amasiga asatu Buganda bw’eyimiridde okuli; Olulyo Olulangira, Abakopi awamu n’Abataka.
Owek. Mayiga yasabye abantu bulijjo okwekebeza bamanye bwe bayimiridde olwo bwe babazuulamu ekikyamu basobola okubawa eddagala era n’abakuutira okugendera ku magezi g’abasawo basobole okuwangaala.
Katikkiro yasaasidde nnyo Olulyo Olulangira ate neyeebaza abo bonna ababedde Omulangira Ssimbwa. Ono era yeegasse ku Nnaalinnya Kagere okwebaza abantu ababeereddewo abaana n’abazzukulu ba Ssekabaka Muteesa 11 okuviira ddala mu biseera ebyakazzigizzigi.
Omulangira Simbwa azaalibwa omwana wa Muteesa ll, Omulangira Daudi Ggolooba abeera mu Bungereza era y’abadde omuzzukulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu mu baana aboobulenzi ate owookubiri mu bonna.
Okuseerera kw’Omulangira kwava ku ndwadde ya ntunnunsi. Ono ajjukirwa nnyo ng’omu ku Bakawonawo b’eryato lya MV Templa eryabbira ku nnyanja Nalubaale mu 2018 era ng’enjega eno yaviirako abantu abaasoba mu 30 okuserengeta e Kaganga mu kiro kimu.









