Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abavubuka naddala abasajja okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwetegeka okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 66.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoze leero ng’aggalawo omusomo gw’abaami n’abaweereza ba Kabaka ku kulwanyisa okusaasaana kwa Mukenenya, ogutegekeddwa Minisitule y’ebyobulamu eya Gavumenti eyaawakati ne Buganda ku Imperial Resort Beach Hotel e Ntebe.
“Mbabuulidde kaati; abasajja mulina okukuuma abaana abawala. Bw’oba ogenda n’omwana omuwala, lowooza ku mwannyoko. Oyagala bamuwe ssente ensajja? Oyagala mwannyoko aleme kubuuza musajja oba baamukebera?” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza.
Katikkiro Mayiga ajjukizza abeetabye mu musomo guno ku buvunaanyizibwa Ssaabasajja Kabaka bwe yasiima okukulembera olutalo lw’okulwanyisa Mukenenya mu n’ensi yonna.
Asabye abafirika okukomya okwekwasa eddogo buli lwe wabeerawo ekirwadde kye batategeera, naye batuukirire obukugu bamanye ekituufu n’engeri gye basobola okubuvvuunuka.
Owek. Mayiga abalabudde ku kabi akava mu butanywerera ku biragaano bye bakuba mu bufumbo obutukuvu, kitaase obulamu.
Katikkiro Mayiga akuutidde abantu naddala abavubuka okukomya okulowooza nti Siriimu takyaliyo olwo ne beegadanga awatali agamba, abasabye okumanya nti ekirwadde kino kikyaliyo era kikyattira ddala abantu.
Kamalabyonna asabye abasajja okumanya nti be basaale mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya kubanga be batandika ebintu bino era nga n’okusalawo okwekuuma kuli mu ngalo zaabwe kuba abakyala oluusi batya okubagamba okwambala obupiira.
Owek. Mayiga asabye abantu okwekebeza bamanye we bayimiridde kubanga ekijjomanyi kinyaga bitono, ate bwe bamanya bwe bayimiridde ne batandika eddagala ettuufu, basobola okubeerawo ne bawangaala.
Katikkiro Mayiga agamba nti essaawa etuuse abavubuka n’abaana abavubuse babagambe kkaati ku ngeri ez’enjawulo mwe basobola okufunira ekirwadde kino, kisobole okubataasa.
Owek. Mayiga alagidde abavubuka okwetaba mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kino nga bwe bakoze ku bya tekinologiya n’ebyobufuzi, naye bafuuke abazira abanajjukirwa mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya.
Asabye abali mu lutalo luno okukozesa olulimi abantu ab’enjawulo okukozesa olulimi olugwanidde kiyambe obubaka okutuuka butereevu ku bantu abalina okubufuna.
Ate ye minisita w’ebyobulamu, ebyenjigiriza awamu ne woofiisi ya Nnaabagereka era ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi lw’emikolo gy’amazaalibwa, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, asabye abataka kuba abantu babawuliramu nnyo, okunnyikiza obubaka bwe bagenda okuggya mu lukung’aana luno.
Ye omukugu wa Minisitule y’ebyobulamu, Prof. David Sserwadda, nga y’abadde omwogezi omukulu mu lukung’aana luno, ategeezezza ng’okutondawo ebibuga bwe kyeraliikiriza nti kiriko engeri gye kigenda okwongera ku kirwadde kino.
Bino byonna bitambulidde wansi w’omukago gw’Obwakabaka bwa Buganda gwe bwakoze ne minisitule y’ebyobulamu eya gavumenti eyaawakati okulaba ng’ekirwadde kya Mukenenya kirwanyisibwa.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abakulembeze mu Bwakabaka omuli baminisita n’abakungu awamu n’abalala okuva mu gavumenti eyaawakati.