Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka
Abawuliriza ba leediyo ya CBS abeegattira mu kibiina kya CBS Fans Club mu ttabi lya St. Balikuddembe mu Buddu bafungizza okwekulaakulanya nga balima emmwanyi mu nkola y’Emmwanyi Terimba.
Bano okuli; Sophia Nabatanzi ne Juma Katende, be baawadde obujulizi ku lwa bannaabwe ne bategeeza nti wadde waliwo ebibasoomooza naye obulamu bwabwe bukyuse nnyo olw’ekirime ky’emmwanyi nga kati baweza yiika 25.
Bano balimira ku kyalo Kabaale-Kibisi mu ggombola ya Lwabenge mu disitulikiti y’e Kalungu ng’okulima emmwanyi bakumazeemu emyaka 8. Era nga bagamba nti ekibatusizza ku kino bwe bwegassi ne basaba abantu ba Kabaka okunyweza obumu.
Olwaleero bano bakyazizza ssentebe wa CBS fans Club ettabi ly’e Kyaddondo Ssendyowa George William n’alambula ebimu ku bye bakola era n’awera naye okwekolamu omulimu n’abantu b’akulembera.
Bw’abadde alambula Ssendyowa abasabye okwagazisa bannaabwe abalala basobole okulima emmwanyi.
Okusinziira ku Katende, basobodde okuteekawo ekyuma ky’emmwanyi okubayamba okwongera ku mutindo kuba baakizuula nti abaguzi babadondola wamu n’okugula nga babajerega.
Katende asabye wabeewo ekikolebwa ku kawuka akakaza emmwanyi era n’asaba Obwakabaka okubayamba babafunire eddagala basobole obutafiirwa.
Bano basabye bammemba bannaabwe abakyakolera mu kibuga yokka beeyunire n’okulima kuba okulima tekusala.