Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde Minisitule y’abakozi ba gavumenti okuwaayo akawumbi ka Ssiringi za Uganda kamu eri buli famire y’eyaliko Pulezidenti w’eggwanga olw’eddimu lye baakola okukulaakulanya eggwanga.
Ekyama kino kibotoddwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, David Karubanga, bw’abadde asisinkanye ababaka ba Palamenti okubategeeza ku kiragiro kino.
Kurabanga annyonnyodde nti baamaze dda okuwaayo obukadde 330 eri bakamisona abaali bakola ku lwa bapulezidenti wakati wa May 22 ne Decemba 15 mu 1980.
Ku bano kuliko; Saulo Musoke, Polycarp Nyamuchoncho ne Yoweri Hunter Wacha-Olwol.
Kino kiddiridde omubaka omukyala owa Rukungiri mu Palamenti, Betty Muzanira, okuleeta ekiteeso ng’asaba gavumenti esasule obuwumbi 4.5 eri famire za bakamisona bano abali bakola ku lwa Pulezidenti.
Muzanira yagamba nti embeera famire z’abantu bano mwe bali eyungula ezziga nga beetaaga okuyambibwako mu bwangu.
Okusinziira ku Karubanga, famire ezigenda okuganyulwa mu nteekateeka eno kuliko eya; Ssekabaka Edward Muteesa II, Milton Obote, Idi Amin, Yusuf Lule, Godfrey Binaisa, Paulo Muwanga ne ya Gen. Tito Okello Lutwa.