Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, ayanjulidde Obuganda olukiiko olugenda okuzza endasi mu mipiira gy’Ebika.

Owek. Mayiga asinzidde wano n’ategeeza nti nga tuyita mu kusamba omupiira nga omuzannyo gusobola bulungi okugatta abantu ba Kabaka n’okunyweza obumu kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.
“Ffe wano mu Buganda ekituyunga ku Kabaka by’Ebika kubanga ayitibwa Ssaabataka era yakulembera abataka ab’obusolya. N’olwekyo mu kusamba omupiira kiba kyangu nnyo okugatta Abaganda, okubaagazisa Ennono n’obuwangwa bwabwe,” bwatyo Mayiga bw’alambuludde.
Owek. Mayiga era agasseeko nti kino kijja kubayamba okwenyigiramu butereevu ku nsonga z’Eggwanga lyabwe.
Ono agambye nti amaanyi gabadde gakendedde mu mipiira gy’Ebika wadde nga obuwagizi bw’emipiira gyebuli era nti akizudde nga abantu baagala okuwagira emipiira egitegekeddwa obulungi.
Owek. Mayiga agasseeko nti bafunye abakugu bano basobole okwekenneenya ensonga eno naddala ku ngeri gyegutegekebwamu, obukugu, ensonga z’ensimbi n’ abawagizi era akakasa nti bano omulimu bajja kugukola bulungi ddala.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, olukiiko era lugenda kutunuulira n’omuzannyo gw’abawala ogw’okubaka kubanga nagwo gwalina abawagizi bangi naye gugenze guggwamu amaanyi.
Katikkiro Mayiga alaze nti ttiimu z’Ebika zisobola bulungi okuliikiriza ttiimu ya She Cranes ssinga gubeera gutereezeddwa bulungi.
Ono asabye abantu bonna abanatuukirirwa olukiiko oluno okuluwa obuwagizi kuba kyeluliko tekiyamba mizannyo mu Buganda mwokka naye ne Uganda nga batumbula ebitone buli omu afunemu.
Olukiiko luno lukulemberwa Mw. Raymond Kabugo namyukibwa Sam Mpima. Abalala kuliko; Sulaiman Ssejjengo, David Katabira, Sam Mpoza, Omutaka Robert Mujabi, Hassan Badru Zziwa n’omukyala Rose Kaala.








