Bya Betty Namawanda
Kyotera – Buddu
Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, alabudde abasawo baayo obutetantala kukukusa ddagala erigema Covid 19 nga balitwala mu ggwanga lya Tanzania kuba anaakikola omulimu gwakumufa.

Kisekulo bino yabyogeredde ku ddwaliro ly’e Kaliisizo ku mukolo gw’okutongoza okugema Covid 19 mu disitulikiti eno eggulo ku Lwokuna.
Mu ngeri y’emu asabye abakulembeze banne n’abantu ab’enjawulo okutavaayo kuteeka kazito ku basawo okubagema mufeezi esooka wabula babeere bagumiikirizza.
Kisekulo asinzidde wano ne yeebaza President Museveni olw’amaanyi g’atadde mu kulwanyisa Covid 19 ssaako endwadde endala omuli Siriimu.
Omubaka wa Pulezidenti e Kyotera, Hajji Ddumba Moses, naye yeegasse ku Ssentebe Kisekulo n’alayira okufaafagana n’abasawo abanaagezaako okutunda eddagala lino era ajja kuvunanwa gwa kulya mu nsi lukwe.
Ono era yalaze okutya eri abantu abalowooza nti enteekateeka y’okugema Covid 19 nti si yaabuwaza n’ategeeza nti yabuwaze okuggyako abo bokka abalina ensonga y’essimba.
Ye akulira eby’obulamu mu Kyotera, Dr Edward Muwanga, yasambazze ebigambo ebibadde byogerwa ku Mutimbagano nti eddagala lino ffu n’asaba abasawo okujjumbira enteekateeka eno.
Dr. Muwanga yalambise ebifo mwe bagenda okugemera Covid 19 ng’agamba ntu bafunye bungi bw’eddagala erisoba munkumi (3000).
Ate ye amyuka akulira abakozi mu disitulikiti eno, Yasin Mayanja, yeeyamye nti bo nga disitulikiti beetegefu okuteeka mu nkola enteekateeka eno, n’asaba abasawo okukola obulungi omulimu guno.









