Bya Ssemakula John
Kampala
Omulangira David Kintu Wasajja asabye gavumenti yaawakati eddize Obwakabaka ebyapa n’ettaka ebyayo byonna ebikwata ku ttaka lyayo esobole okulikozesa okuganyula abantu baayo.

Okusaba kuno Omulangira Wasajja akukoze atikkula ebirabo (Amakula) mu Lubiri e Mmengo olwaleero ku Lwokuna n’agamba nti ebyatuukawo ku Ssekabaka Muteesa byava ku gavumenti kulemwa kuwuliriza kuwabulwa.
“Tukubiriza bannaffe aba gavumenti nti ekiseera ky’ekyo, emyaka 27 okuva Obwakabaka lwe bubaddewo, ebyapa bikyali mu buwambe. Tukubiriza babite kubanga gye bakoma okubeera n’ebyapa ebyo kyongera okuleeta enkaayana z’ettaka. Ndowooza ab’e Kyaggwe ebya Kibuule mwabiwulira waliwo eyamuwa ettaka ng’alowooza lya gavumenti naye nga lyaddira Obwakabaka.” Omulangira Wasajja bw’agambye.
Omulangira Wasajja annyonnyodde nti tekisoboka gavumenti kutereeza mateeka ga ttaka mu Uganda ne Buganda ate ng’ettaka lye basinziirako liri mu buwambe. Ono agasseeko nti gavumenti okulemera ettaka lya Buganda kikosa Obwakabaka mu byenfuna era n’abali ku ttaka ly’Obwakabaka tebalina busuulu bwonna bwe bawa Bwakabaka.
Omulangira Wasajja awadde gavumenti amagezi okutwala okuwabulwa n’okulungamizibwa kwa Ssaabasajja Kabaka bwe baba baagala ensi Uganda okukulaakulana kuba ebigambo bye bibeera byakulengera wala era bya buvunaanyizibwa.
“Buganda erina enkola yaayo, Ssaabasajja y’akulembera ebirala ne bijja era nga nsuubira nti n’emirembe gino ensi yaffe yandibadde yeesiimisaako singa bannaffe abali mu buyinza boogera okuwuliriza Ssaabasajja kubanga ebigambo bye bibeera bya nsa.” Omulangira Wasajja bw’agambye.
Omulangira Wasajja awadde eky’okulabirako ky’etteeka eryali lireeteddwa okusasula busuulu bwa nnusu 1000 ku kibanja, wabula Omutanda n’agaana okuliwagira era gye byaggweera nga gavumenti ensonga eziggyeemu enta.
“Naye ng’ebyo byonna n’enkaayana zino ez’okusika omuguwa zandibadde tezituuka weeziri singa bannaffe bongera okuwuliriza n’okulung’amizibwa Ssaabasajja Kabaka.” Omulangira Wasajja bw’agasseeko. Omulangira Wasajja agambye nti kizzaamu amaanyi okulaba nga wakati mu biseera by’ebyenfuna ebizibu nga bino abantu ba Buganda basigadde batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era Beene n’asobola okulabirira abantu be abali mu mbiri wamu n’abeetavu.
“Ssaabasajja aggumira bantu era amaanyi ge agajja mu mmwe. Kale mwebale obutamusuulirira, abantu bangi nnyo beenyumiriza mu kubeera abaganda naye ensonga oluusi bazepena.” Omulangira Wasajja bw’agambye. Omulangira Wasajja ategeezezza nti ebirabo n’amakula kabonero akalaga akakwate k’abaganda ne Kabaka kuba Beene kye kifundikwa kya Buganda era Maasomoogi agiyamba okulengera ewala.
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu asinzidde wano n’asaba gavumenti okugonjoola ebisoomoozo by’abasomesa mu ssentendekero wa Makerere abeedimye okusomesa kubanga kino kifiiriza abayizi ate n’abazadde okutwalliza awamu.
Amakula agaleeteddwa gavudde mu ggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe nga yeegattiddwako bannamakolero ab’enjawulo okuli; Maganjo Grain Millers, Kidawalime ate n’abakinjaaji okuva mu Lufula City Abattoir.
Bano bategeezeza nti bo ng’abantu ba Kabaka kibakakatako okutuukiriza ennono yaabwe era y’emu ku ngeri y’okubanywezaamu Obumu.









