Bya Ssemakula John
Kampala
Bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu nga bakuliddwamu Medard Lubega Sseggona balagiddwa okusooka okuzza obuggya Ssatifikeeti zaabwe ezibakkiriza okuwoza emisango nga Ssaabalamuzi tannawa nsala ye mu kusaba kwa Kyagulanyi mw’ayagalira okuggyayo omusango gwe mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Yoweri Museveni mu kalulu ka 2021.
Kyagulanyi yavaayo n’ategeeza olukung’aana lwa bannamawulire mu Kampala, omwezi oguwedde nti yalagidde bannamateeka be okuggyayo omusango kuba yabadde alemeddwa okufunayo obwenkanya.
Olwaleero kkooti Ensukkulumu eyongezaayo okuwulira okusaba kwa Kyagulanyi eyakwata ekyokubiri mu kalulu akaakubwa nga January 14.
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny – Dollo awaliriziddwa okwongezaayo omusango guno okutuusa enkya ku ssaawa 3 ez’okumakya, asobozese bannamateeka ba Kyagulanyi okuzza obuggya Ssatifikeeti zaabwe ezibakkiriza okukola emirimu nga bannamateeka oluvannyuma lw’okuggwako nga 1 March 2021.
Kino kiddiridde bannamateeka ba Kyagulanyi okusaba okuwabulwa kkooti kuba Ssatifikeeti zaabwe ziweddeko ate ng’ekyokufuna empya kwabadde kukeereye. Mu kwanukula omu ku bawawaabirwa era Ssaabawolereza , William Byaruhanga, ategeezezza nti talina ttabbu ku kya Sseggona kweyongerayo ng’awoza wadde layisinsi ye yabadde eweddeko olw’okuba nti tewali budde era obudde obwaweebwayo okuwulira omusango guno bwabadde buggwaayo.
“Tusaba nti singa kkooti ekkiriza, ffe tetulina kuwakanya kwonna ku kwongezaayo musango tusobozese Sseggona ne banne okumaliriza okufuna Ssatifikeeti zaabwe.” Byaruhanga bw’annyonnyodde kkooti.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo ku nsonga eno agambye nti, “Tubawadde okutuuka olw’eggulo lwaleero ku ssaawa 11 okumaliriza ensonga ya Ssatifikeeti ne Ssaabawandiisi w’ekitongole ekiramuzi. Bwekiba kyakulwawo musobola okuweebwa Ssatifeeketi ez’ekiseera eziggwako nga March 18.”
Kkooti Ensukkulumu ebadde ezzeemu okutuula amakya ga leero okuwulira okusaba kwa Kyagulanyi mw’ayagalira okuggyayo omusango gwe ogw’ebyokulonda.