Bya Ssemakula John
Kampala
Kyaddaaki gavumenti efulumizza olukalala lw’abantu 177 abagambibwa okuwambibwa ab’ebyokwerinda wadde ng’abeebyobuyinza bagamba nti bano baakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebintu by’amagye era bano baasooka kusimbibwa mu kkooti y’amagye oluvannyuma ne basindikibwa ku alimanda.
Bw’abadde awaayo olukalala luno eri Palamenti leero ku Lwokuna, Minisita w’ensonga ez’omunda, Gen. Jeje Odongo, agambye nti ku bantu bano 177, 155 ku bo baabasanga n’ebintu by’amagye, ekintu ekimenya amateeka.
Okusinziira ku Minisita Odongo, 156 baasimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa okusangibwa n’ebyokulwanyisa era ne basindikibwa ku alimanda mu kkomera ly’e Makindye nga bwe balinda okuwozesebwa.
Olukalala luno luliko abantu abalala 53 abaakwatibwa olw’okwenyigira mu kwekalakaasa era bangi ku bano nabo baasindikibwa mu kkomera e Makindye.
Akawayiro nnamba 161 ak’etteeka lya UPDF kagamba nti omuntu yenna asangibwa n’ebyokulwanyisa ajja kuvunaanibwa era bwe gumusinga asibwe emyaka 14 oba okuwa engassi oba byombi.
Omwezi oguwedde, Pulezidenti Museveni yawakanya ebyali byogerwa nti abamu ku bantu baali bawambiddwa n’ategeeza nti aboogerwako baali bakwatiddwa ku misango egy’enjawulo.
Wabula omuwendo ogufulumiziddwa Minisitule y’ensonga z’omunda tegukwatagana na muwendo Pulezidenti Museveni gwe yayogerako kuba yagamba nti abakwate bali 200 ate olukalala olufulumiziddwa lulaga abantu 177.
Olukalala olufulumiziddwa luleeseewo akalembereza mu bantu b’abamu ku bakwate ababadde beebuuza abantu baabwe gye bali kuba abamu ku bano bamaze omwezi mulamba nga tebamanyiseeko wa gye bali.
Kinajjukirwa nti ebitongole by’ebyokwerinda bibadde bikubagana empawa ku ani alina obuvunaanyizibwa okufulumya olukalala luno ng’okusooka amyuka Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj. Gen. Paul Lokech, yayita olukung’aana lwa bannamawulire okubawa amawulire wabula n’alusazaamu awatali kuwa nsonga yonna.