Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Justine Kasule Lumumba, alabudde bannabyabufuzi okukomya okweyagaliza n’ebigendererwa ebikyamu mu kifo ky’okwonoona ekifaananyi kya kkooti z’eggwanga.
Kino kiddiridde munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) era Pulezidenti waakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okulagira bannamateeka be okuggyayo omusango mw’abadde awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni ng’agamba nti kkooti yazeefuga.
Lumumba yalumirizza Kyagulanyi nti okusooka yali agaanye okugenda mu kkooti kyokka n’amala ne yeekyusa, ekiraga nti yalina ebigendererwa bye.
“Ensonga ya Mw. Kyagulanyi okugamba nti Ssaabalamuzi Owiny-Dollo n’Omulamuzi Mike Chibita okuva mu musango olw’okuba baakolaganako ne Museveni ky’abadde kyakwekwasa.” Lumumba bwe yagambye.
Okusinziira Ku Lumumba, Pulezidenti Museveni abadde mu by’obufuzi n’obukulembeze okumala emyaka 50 nga kizibu okusanga omuntu atakolaganyeeko naye mu banene abali mu ggwanga. Lumumba yeewuunyizza lwaki Kyagulanyi yakyukidde ekitongole ekiramuzi ate nga mu 2020 omulamuzi Ssekaana yawa ensala ye, Kyagulanyi n’awangula omusango ku kuwandiisibwa kw’ekibiina kye.
“Mw. Kyagulanyi ne banne baali basanyufu nga bawangudde omusango naye kati olw’okuba kkooti ensukkulumu yagaanye okubakkiriza okukola ennongoosereza mu mpaaba yaabwe era ne baweebwa amagezi ku kye balina okukola naye kati kkooti azivumirira.” Lumumba bwe yakkaatiriza.
Lumumba yasabye Kyagulanyi okutawa bawagizi be ssuubi litaliiwo era bakomye okukkiririza mu bulimba obutambulira ku mutimbagano omuli n’emmeeri ya Amerika eyagobye e Mombasa.