• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine aggyeeyo omusango mu kkooti ensukkulumu

Gambuuze by Gambuuze
February 22, 2021
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine aggyeeyo omusango mu kkooti ensukkulumu
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kamwokya

Akulira ekibiina kya  National Unity Platform (NUP), Mr Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine,  awadde bannamateeka be ekiragiro okuggyayo omusango mu kkooti ensukkulumu gwe yali awaabye ng’awakanya obuwanguzi bwa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kalulu akaakubwa nga January 14, 2021.

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu

 “ Tuggyeeyo omusango mu kkooti  naye ate tetugenda kukozesa bikolwa byaffujjo. Tusazeewo okuggyayo omusango mu kkooti ya Mw. Owiny Dollo.” Bw’atyo Kyagulanyi bw’ategezeezezza bannamawulire bakung’aanidde ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya.

Kino kiddiridde abawawaabirwa okuli; Pulezidenti Yoweri Musevenim akakiiko k’ebyokulonda wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti, okuteekayo okwewozaako kwabwe mu bujulizi obuwerera ddala 185 okwanukula ensonga 53 Kyagulanyi ze yali asinziddeko okuwakanya obuwanguzi bwa Museveni.

Bannamateeka ba National Resistance Movement (NRM) baavuddeyo ne balabula Kyagulanyi obutaggyayo musango nga bwanaakikola ajja kubaliyirira ssente eziwerera ddala.

Akulira eby’amateeka mu NRM, Oscar Kihika, yagambye nti bajja kusaba Kyagulanyi okusasula ssente zonna ezisaasaanyiziddwa mu musango wamu n’obudde bwabwe.

 “Kansuubire bannamateeka ba Kyagulanyi banaawa omuntu waabwe amagezi  obutaggyayo musango. Kuba waliwo ebintu ebirina okukigoberera. Bwe biba nga bye yayogedde abitegeeza, alina okukimanya nti si kintu kyangu.” Bw’atyo Kihika bwe yagambye.

Kihika yannyonnyodde nti singa aggyayo omusango alina okukimanya nti alina okuliyirira bannamateeka baffe olw’obudde n’okubamalira ebiseera.

Kino kizzeewo oluvannyuma lwa Ssaabalamuzi n’abalamuzi abalala babiri okugaana okuva mu musango guno nga Kyagulanyi bwe yali asabye.

Munnamateeka wa Kyagulanyi,  Anthony Wameli,  akakasizza nga Kyagulanyi bw’ali omwetegefu okusasula singa omusango anaaba aguggyeeyo.

Wabula ye Kyagulanyi ategeezezza bannamawulire nti mwetegefu n’okusinga aba NRM kye balowooza kuba baasasula dda ekisingako ng’okuva akalulu lwe kaatandika, abantu be bazze battibwa era teri muwendo guyinza kusinga bulamu bw’abantu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist