Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ensukkulumu etaddewo obudde obulina okugobererwa bannamateeka ku njuyi zombi mu musango eyavuganya ku bwapulezidenti era munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti owa NRM mu kalulu ka 2021.
Leero ku Lwokuna, kkooti etunuulidde enteekateeka y’omusango guno ku ki ekirina okuwulirwa era na ddi? Akulembeddemu abalamuzi bano 9 era Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo, ategeezezza bannamateeka ku njuyi zombi nti obudde omusango guno mwe gulina okuwulirwa bwagenze dda era basaanye okukozesa akadde akasigaddeyo n’obwegendereza.
“Ku nnaku 45 ezituweebwa twakakozesaako 10, Mugenda kuweebwa eddakiika 30 okwogera nga muttaanya ku nsonga so ezitavuddeyo bulungi mu biwandiiko so si kuwoza musango gwonna, temulandagga.” Ssaabalamuzi Dollo bw’agambye.
Ssaabalamuzi bano abawadde bannamateeka ku njuyi zombi okugoberera obudde obukkaanyiziddwako era kino bwe batakikola obudde bugenda kubakwata nga kkooti.
Ono abasabye bakolaganire wamu era baleme kweraba nga balabe naye buli ludda lukolerere okukakasa kkooti nti omuntu waalwo alina ensonga ey’esimba.
Okusinziira ku Ssaabalamuzi Dollo, oludda oluwaabi olwa Robert Kyagulanyi, luweereddwa okutuuka ennaku z’omwezi February 14 okuwaayo ebirayiro ebyakubiddwa ku kubba obululu ate olwa Museveni okutuusa February 20 okuwaayo okwewozaako kwabwe.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo annyonnyodde nti Kyagulanyi ajja kuwaayo ensonga zonna endala ze yandyagadde kkooti okutunulamu alina kukikola nga 24.
Abawaabi balina okuwaayo empaaba yaabwe mu buwandiike nga Febraury 23 ate abawawaabirwa baweeyo okwewozaako kwabwe wakati wa March 2. March 4 oludda oluwaabi lujja kuddamu okuwaayo ensonga ezisigalidde. Bannamateeka okuva ku njuyi zombi baakufuna omukisa okusoya abajulizi ku njuyi zombi era baweeyo n’obujulizi bw’obutambi wakati wa February 25 ne 26.
Ate March 5, bannamateeka baakufuna omukisa okuwoza mu bigambo era buli omu ajja kukozesa eddakiika 30 ate oludda oluwaabi luweebwe eddakiika endala 20 okwongera okuttaanya ku nsonga ezinaaba zibulamu.
Olwo Kkooti ensukkulumu ejja kukozesa March 7 ne 17 okutunula mu nsonga z’omusango ku njuyi zombi era ewe ensala yaayo nga March 18.
Kyagulanyi yatwala Pulezidenti Museveni mu kkooti, akakiiko k’ebyokulonda awamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti nga agamba nti ebyalangirirwa nga January 14 byali bikyamu.