Mu bimu ku bintu bye sigenda kwerabira, lwe lunaku lwe nasooka okuyigga e Nakaseke mu Luweero mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Bulemeezi.
Ku lunaku luno nawerekera abayizzi abaali bamaze okuziga nti mu ttale eryali mu kitundu kino mwalimu engabi eyali etabaala. Omu ku bayizzi yafuuwa omulere era mukadde katono ddala abasajja embaggubaggu n’abalenzi embulakalevu bagguka era nange nali omu ku bo. Bano bajja n’entuula, embwa, ebide, amafumu, emiggo, amalebe wamu n’obwambe.
Ensiko yali ekubiddwamu engeri ya bbookisi era wano olwakakasa nti ensolo ku kizigo kweri, abasajja n’abalenzi bagabanyizibwamu emirundi ebiri ku njuyi z’obulambe ezaali ziteereddwawo era bano baatandika okwasira n’okuleekana nga bwe bakuba amalebe okwolekera ewaali wateereddwa olutuula olwali luteereddwako obutabi bw’emiti okubuzaabuza.
Abamu ku basajja abaalina amafumu bo baali babwamye mu kasirise ku ludda olulala ate abasajja abalala abalina embwa n’ebide beesogga ensiko ng’eno embwa bwe ziboggola n’ebide nga bivuga. Okuboggola n’okuyoogana kw’ebidde ebyali biva ku ludda olumu kyatiisa engabi bwetyo netandika okudduka nga eyolekera oludda olwali olusirifu etaase obulamu.
Jjukira nti luno lwe ludda olwaliko abayizzi nga babwamye n’amafumu era nga ye wali n’olutuula olulina okugikwata bagimalirize. Buli omu yali aweereddwa obuvunaanyizibwa era ng’abutegedde bulungi. Nze n’abalenzi abalala twali tuteereddwa oludda n’oludda era ogwaffe gwali gwakuleekana nnyo. Wakati ng’okuyigga kutabye, abalenzi ababiri abaali bateereddwa oludda olumu, baavaayo ne bajja ne batwegattako we twali. Bano we baalina okuba baalekawo ekituli ekyali ekisirifu era wano engabi we yayita n’emyansa.
Kino abayizi bwe baakimanya baatabukira abalenzi era kabula kata babayuzeemu obulere, bano baali b’onoonye olunaku era enva z’olwo zaali zigenze.
N’okulonda okulimu okuggya mu buyinza gavumenti emaze emyaka 35 mu buyinza tekyawukana nnyo n’okuyigga okubeera mu byalo. Buli omu abaako obuvunaanyizibwa bw’alina okutuukiriza era kino bwatakikola tewali kiyinza kugguka. Bwe kityo bwe kyali ku Kenneth Kaunda owa Zambia, Kamuzu Banda owa Malawi era bwe kyabadde ne ku Yahya Jammeh owa Gambia abawanguddwa okuyita mu kalulu.
Ku bakulembeze bonna okuva mu buyinza, oludda oluvuganya, bannaddiini, emikutu gy’amawulirre, ebibiina by’obwannakyewa, abagabi b’obuyambi wamu n’abafuzi b’ensikirano n’abalala, baamanya obuvunaanyizibwa bwabwe era ne babutuukiriza awatali kutya kwonna. Olaba ne ku muliraano wano e Kenya, ekibiina kya KANU ekyali kirudde mu buyinza baakiwangula bagoberera kakodyo ako.
Obuvunaanyizibwa bwe baabugabana era buli omu n’akola kye yalina okukola, baasobola okutondawo enkyukakyuka ey’omuggundu. Enkola eno ye yabadde erina okugobererwa mu kalulu ka 2021 okusobola okuwangula obukulembeze bwa Mw. Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni. Pulezidenti Museveni ku luno yabadde n’abamuvuganya okuva mu bitundu eby’enjawulo era bano baaweze 10 balamba.
Ekyokukola kyabadde kyangu, eky’okusimbawo omuntu omu kyabadde tekyetaagisa naye buli omu yabadde alina okukung’aanya obululu obuwera.
Okugeza Nancy Kalembe n’afuna obululu obuwera okuva mu bakyala awamu n’ekitundu ky’e Busoga. Joseph Kabuleta naye n’afuna obululu okuva mu bakatoliki awamu n’ekitundu kya Bunyoro gy’asibuka. Olwo Patrick Oboi Amuriat n’afuna obululu obuwera okuva mu buvanjuba ate olwo Kyagulanyi Ssentamu n’afuna obululu okuva mu bavubuka n’ekitundu kya Buganda.
Wano Nobert Mao yandikoze kimu kya kwekwata kitundu kya mambuka ate abalala okuli; Mugisha Muntu, Henry Tumukunde ne Fred Mwesigye, ne banyweza ekitundu kya Ankole.
Mu mbeera eno singa bannaddiini, abamawulire ne bannakyewa awamu n’abakulembeze b’ensikirano nabo baakoze ogwabwe awatali kutya, akalulu kandibadde kazibu Museveni okukafunamu ebitundu ebisoba mu 50 ku buli 100 ekiragirwa mu mateeka.
Kino kitegeeza akalulu kandididdwamu era kino kyandisobodde bulungi okutwala Pulezidenti Museveni.
Ebyembi ng’abalenzi bali abayizzi bwe baaleka obuvunaanyizibwa bwabwe engabi n’etoloka, ne ku mulundi guno, abamu obuvunaanyizibwa bwabwe baabusudde engabi era n’etoloka.
Ekitundu kya Buganda n’amawanga g’ebweru agamu be baasobodde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu kalulu ka 2021.
Abamu batandise okuwanuuza nti engeri Buganda gye yalonzeemu eyoleka obusosoze naye kye batannyonnyola y’ensonga lwaki tewali muntu yenna ku beesimbawo eyali awangudde wadde ekifo ekimu ekironderwamu mu bitundu bya Ankole okuva mu 1996.
Ennonda ya Buganda erina obubaka bw’eweereza bannakibiina kya NRM, obugamba nti akaseera katuuse ebintu bikyukemu.
Wadde gavumenti ya NRM eweereza bulungi bannayuganda okumala emyaka 35 naye abamu batandise okugiraba nga bbaasi eyakola ssente okumala ekiseera wabula nga kati ekaddiye.
Abalina endowooza eno bagamba nti kya bbeeyi okuddaabiriza bbaasi eno era yeetaaga okuwummuzibwa.
Naye abaffe kino kitegeeza nti bbaasi tebajagala era tebalaba makula ge yabakolera mu kiseera kiri?
Tewali muntu ategeera alina bukyayi ku Pulezidenti Museveni. Abange atandika atya era lwaki? Uganda yandibadde wa awatali ttofaali lye? Ekituufu kiri nti kati ekyuma kikaddiye era kyonna bituli, tekikyasobola kutuukiriza byetaago bya bannayuganda. Kati olwo yo NRM ekole ki mu myaka 5 egiddako? Akaseera katuuse balonde omuvubuka envuumuulo alaba ebintu mu butuufu bwabyo, addire omukulu mu bigere.
Singa bawalaza empaka ebintu ne bigenda nga bwebiri, omwaka gwa 2026 gwandibatwala okusinga n’ekyo ekyali ewa Kaunda mu Zambia.
Peter Nyanzi
Omuwandiisi mukugu mu nsonga z’amawulire