Bya Gerald Mulindwa
Buloba
Essomero lya Ssaabasajja Kabaka erya Lubiri High School erisangibwa e Buloba mu Wakiso, lifunye bboodi empya enaalisobozesa okwongera okuweereza abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu kisaawe ky’ebyenjigiriza.
Bboodi empya ekulirwa Mw. Amos Gitta n’amyukibwa Mw. Badru Ndugwa era ng’aliko n’abakiise abalala okuli; Dr. Proscovia Namayanja, Mw Mugerwa Reagan, Lubowa Ssebina Gyaviira, Dr. David Kabugo, Muky. Hasfa Namulindwa, Kijjambu William, Mugagga Joseph ne Nakimuli Leticia.
Bw’abadde atongoza Bboodi eno olwaleero ku ssomero lya Lubiri High School Buloba, Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, akuutidde abalondeddwa okukola ekisoboka balabe ng’essomero liyaayanirwa abayizi nga n’obubonero bulungi ddala, olwo abazadde bajja kulinoonya bokka.
Owek. Nankindu asabye olukiiko olulondeddwa lukwate bukusu ensonga ssemasonga ettaano eza Buganda naddala ey’okukuuma Nnamulondo nga mu kyo balina okukuuma ebyama bya Buganda awatali kubifulumya.
Ono abakubirizza okubeera obumu kibasobozese okutambuza obulungi emirimu gyabwe bakulaakulanye Obuganda ne Uganda.
Essomero lino erya Lubiri High School ettabi ly’e Buloba ly’erimu ku masomero agaatandikibwawo Obwakabaka okusobola okutuusa ebyenjigiriza ebiri ku mutindo eri abantu ba Ssaabasajja Kabaka.