Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga awakanyizza ebyogerwa abantu abamu nti, waliwo omuyaga gw’ebyobufuzi wabula n’agamba nti waliwo ekisuubirwa mu bakulembeze era y’ensonga lwaki abantu balonze nga bwe balonze.
“Abantu bano aba bulijjo tugenda ne tubagaya naye amaaso babeera balaba. Ani yagamba ab’e Masaka balonde mmwe nga bwe baabalonze, kijja kitya nti nga bwe baalonze Kimanya-Kabonero bwe baalonze Nyendo -Mukungwe, kijja kitya ab’e Bulemeezi ne Kyotera ne balonda kimu?” Owek. Mayiga bw’abuuzizza.
Kamalabyonna bino abitegeezezza abakulembeze b’e Masaka abalonde abamusisinkanye mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokutaano n’abasaba obutekkiriranya.
“N’abalina ssente baabasudde ne bawa abatalina ssente, ogwo gw’oyita omuyaga. Si mawanga, e Mityana baaleseewo omuganda ne bagenda ne Mugisha. Noolwekyo abantu balina kye babasuubiramu.” Mayiga bw’agasseeko.
Katikkiro Mayiga abakuutidde obutawukana ku bantu kuba baabalonze nga balina bye babasuubiramu era abasabye obutabayiwa era bakimanye nti babeera bagoberera.
Abasabye okusoosowaza ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano era n’abasaba okubeera abavumu era bakimanye nti kino tekibaggyaako mwoyo gwa Uganda.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kulangirira akakiiko akanaakwatagana ne bannabyabufuzi, kayambe okuwuliziganya n’abakulembeze abalonde, bamanye ensonga za gavumenti ya Buganda, bazituuse mu nkiiko za disitulikiti ne Palamenti.
“Buganda erina okufuna omugabo gwayo mu Uganda. Ffe tusinga n’okuwa omusolo, kaakati bwe tuba tubabuulidde nti enteekateeka ziri bwe ziti ne muzituusa ku disitulikiti ne Palamenti, abantu ba Buganda bajja kwongera okuba abasanyufu.” Owek. Mayiga bw’abalambise.
Mayiga era yalaze okutya olw’abantu abavundira mu makomera n’abo abali mu kuwambibwa buli lukya olw’ebyobufuzi nti, kino kijja kutabangula ensi.
Kamalabyonna abalabudde ku bisoomoozo bye bagenda okusanga naye n’abagumya okunywera, kuba omulimu gw’abakulembeze kubeera kutema mpenda ezisobola okuvvuunuka ebizibu ebyo era bamanye nti, balina obuwagizi bw’abantu.
“Obuwanguzi si kutambulira ku musentwe, obuwanguzi kuvvuunuka buwonvu na bugga.” Kamalabyonna bw’abakuutidde.
Ate Minisita w’Obwakabaka ow’amawulire, Owek. Noah Kiyimba, asiimye bannabuddu olw’okudda okuloopa Olutabaalo era n’alaga essanyu olw’okuba nti bano abaawangudde obukulembeze, bannankobazambogo era n’abasaba okukola ennyo bazze Buddu ku ntikko.
Mmeeya w’ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka ekya Masaka, Florence Namayanja, ategeezezza nti Masaka tewali ky’erina kuba n’ebintu ebitono bye yalina banne ababadde mu buyinza babitunze.
Ye omubaka omulonde owa Kimanya Kabonera, Abed Bwanika, annyonnyodde Katikkiro Mayiga nti bakkiriziganyiza enkulaakulana bagitabulize ku by’obulambuzi mu nnono, wamu n’empisa za Buganda, okulima n’ebirala, basobole okukulaakulana.
Omubaka Mathias Mpuuga alaze Kamalabyonna nti beetegese okuzimbira Buganda ekibuga ekitambulira ku nnono n’empisa za Buganda obutafaananako Kampala eyava ku mulamwa.
Ensisinkano eno, yeetabiddwamu abakulembeze okuli; Omubaka Mathias Mpuuga, Abed Bwanika, Mmeeya Florence Namayanja, Batemyeto, Kansala Kimuli, Achiles Mawanda awamu n’abalala, nga bonna beeyamye okutambulira awamu ne Buganda.