Bya Jesse Lwanga
Mukono
Abapoliisi ku poliisi y’e Mukono, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa kkampuni ya Kansai Paint ekola langi ya Plascon, okubawa langi embalirirwamu obukadde 15 okuzza ekifaananyi kya poliisi eno engulu, okutumbula enfaanana yaakyo wamu n’okuyambako okugoba ensiri.
Langi eno egenda kusiigibwa mu bisulo by’abapoliisi, okukendeeza ku kizibu ky’omusujja gw’ensiri ogutawaanya ennyo abapoliisi bano. Kkampuni ya Kansai era ewaddeyo ne langi endala erina okusiigibwa ku bizimbe bya poliisi eno.
Omu ku bakitunzi ba Plascon, Kayongo Daniel, agambye nti enteekateeka eno esukka mu bukadde 200 era nga bagikola buli mwaka okuddiza ku bantu be bakoleramu era nga ku mulundi guno batandikidde ku poliisi y’e Mukono.
Kayongo agamba nti abaserikale bano bakola omulimu munene okutebenkeza ebitundu nga na bwe kityo basaanye okusiimibwa olwomulimu gwe bakola.
Addumira poliisi mu Mukono, SP. Musiho Abubaker, asiimye enkola ya Plascon kyokka n’akalaatira basajja be okukuuma enkolagana ennungi n’abantu be bakoleramu nti singa si bantu bano, poliisi eba terina mirimu.
Ono agamba nti okusiiga kuno kuggya kukuumira ekitebe kyabwe ku mutindo gw’ekibuga era n’asaba abalala balabire ku bano okubeera nga baddiza ku bantu.