Bya Ssemakula John
Buddu
Abali ku mulimu gw’okuddaabiriza ennyumba entongole eya Ppookino emanyiddwa nga Buddukiro, batongozza enkola y’Olumuli,’ okwongera okusikiriza abantu abaagala okudduukirira enteekateeka eno.
Enteekateeka eno etunuulidde ggombolola ezikola essaza Buddu era wano buli Muluka ku giri mu ggombolola, gwaweebwa omutemwa ogwessalira gwe balina okuwaayo okutambuza omulimu guno.
Ppookino Jude Muleke yeebazizza abagguddewo enkola y’Olumuli era n’ategeeza nti emiruka gyonna egisoba 100 bwe gikola bwe gityo, emirimu gya Kabaka gyakutambula bukwakku.
Ppookino asinzidde wano n’asaba abakulira disitulikiti n’eggombolola za gavumenti eyaawakati, okuzza ebizimbe bya Buganda mwe bakakkalabiza emirimu gya Gavumenti kubanga n’Obwakabaka bulina obwetaavu.
Omumyuka wa Ppookino owookusatu, Mwalimu Kato Abdalah, asinzidde wano n’alabula bannabyabufuzi abatandise okutambuza enjiri ey’obusosoze mu mawanga. Ab’Emiruka egikiise mu mbuga ya Ppookino oluvannyuma balambuziddwa okuddaabiriza Buddukiro we kutuuse.
Mu nkola eno, eggombolola ya Musaale y’egguddewo ng’eno ekulemberwa Omwami wa Kabaka, Nyanzi Joseph Mukasa, y’esoose mu butongole okuwaayo Olumuli nga ku miruka 7 egirimu, emiruka 4 gyokka gye gireese Olumuli. “Naye ate kino ekyatandise kirungi kuba Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ab’Emiruka, balabika mu maaso go era n’omanya nti bakola.” Musaale Nyanzi bw’agambye.
Kinajjukirwa nti Omutanda yalagira embuga z’amasaza ez’enjawulo okuddabirizibwa.