Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezident Yoweri Kaguta Museveni ayise ababaka b’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu maka g’obwapulezidenti, bateese ku byava mu kalulu ka 2021 naddala mu Buganda.
Okusinziira ku bubaka obuweerezeddwa Nnampala wa gavumenti eri ababaka bano era bwe tulabyeko, ababaka bano bagenda kusooka kukeberwa kirwadde kya Ssennyiga Corona ku buwaze okukkirizibwa mu nsisinkano eno.
“Mbalamusizza bannange. Nsabiddwa okubategeeza nti tugenda kusisinkana Pulezidenti Museveni ng’akabondo ka NRM enkya ku Lwokuna nga 28th mu maka g’ obwapulezidenti Entebbe. Okukeberwa ekirwadde kya Corona eri abo abayitiddwa kutandika olwaleero ku Lwokusatu ku Palamenti.” Obumu ku bubaka buno obwateereddwa ku Whatsapp bwe busomye.
Abamu ku babaka bano bannyonnyodde nti ebimu ku bintu ebiri ku lukalala lwe bye bagenda okuteesaako kwe kukola obubi mu Buganda ne Busoga, ekibiina gye kibadde ekiganzi.
Kino kiddiridde ekibiina kya National Unity Platform ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu okuwangula ebifo ebisinga obungi mu Buganda ne Busoga okuva ku mutendera gw’obwapulezidenti okutuuka wansi.
Oluvannyuma lw’ebintu okubeera bwe biti, Pulezidenti Museveni yavaayo n’ategeeza ng’ekitundu kya Buganda bwe kirimu okusosola abatali Baganda.
Ono Katikkiro Charles Peter Mayiga yamuwa amagezi asooke akole ku bizibu by’abantu mu Buganda okuli; ebyenjigiriza, obwavu, ebyobulamu awamu ne Federo, kuba buno bwabadde bubaka abantu bwe babadde basindika ku bibaluma so si kusosola mu mawanga.