Bya Ssemakula John
Masaka
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka, Charles Yeteise, leero ku Lwokubiri akakasizza munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Francis Katabaazi, ng’omubaka omulonde owa Kalungu East mu palamenti.
Kino kiddiridde omulamuzi ono okulagira obululu buddemu okubalibwa wabula ne buleetebwa nga ‘Seal’ zaabwe ezimu zamenyeddwa ate nga langi z’endala zawukana.
Minisita w’ebyobulimi, Vincent Ssempijja, ku Mmande yaddukidde mu kkooti e Masaka ng’asaba obululu buddemu okubalibwa ng’agamba nti baagenti be bagobebwa mu bifo ewaali walonderwa ebiwerera ddala 25, ekyawa Katabaazi omukisa okubba obululu era n’alangirirwa ng’omuwanguzi.
Katabaazi yasoose kutya era n’akeera mu kkooti leero ku makya ng’asaba okugaana obululu okuddamu okubalibwa, wabula omulamuzi okusaba kwe n’akugoba ng’agamba nti obululu bulina okubalibwa olwaleero.
Wabula wakati nga buli ludda lwetegese okuddamu okubala akalulu ku ssomero lya Jude Primary School mu ttawuni kkanso y’e Lukaya, obumu ku bubookisi busangiddwa nga bwasanukuddwa.
‘Seal’ ezirina okuteekebwa ku bubookisi buno zaabadde zaamenyeddwa era nga ab’ebyokwerinda ababadde babukuuma n’ababulese buli omu alemeddwa okunnyonnyola engeri gye bwamenyeseemu.
Wano omulamuzi w’asinzidde n’asazaamu eby’okuddamu okubala obululu buno, ekiwadde Katabaazi obuwanguzi.
Minisita Ssempijja agambye nti talina ky’amaanyi ky’asobola kwogera ku nsonga eno kuba ye azze mu kkooti ng’anoonya bwenkanya era ng’abadde tamanyi nti obubookisi bubadde bwamenyeddwa era nga basoose kubukebera nga babuleeta era nga bulamu.