Bya Ssemakula John
Kampala
Loodimeeya wa Kampala, Erias Lukwago yeemulugunyiza ku bantu obutajjumbira kulonda bammeeya ne bassentebe ba disitulikiti ekintu kyagamba nti kivudde ku kakiiko k’ebyokulonda akalemeddwa okukola omulimu gwako.
Lukwago okwegumulugunya kuno akukoledde Lubaga mu zzooni ya Bulwa bwabadde agenze okukuba akalulu nategeeza nti mu bifo ebisinga okulonda kutandise kikeerezi ku ssaawa eziragirwa.
Ono nga y’omu ku beesimbyewo ku kifo ky’Obwaloodimmeeya agambye nti, “Kirabikirawo nti akakiiko k’ebyokulonda kalaze obunafu era ebikozesebwa byatuuse kikeerezi, tosobola kikkiriza nti nange wenondera okulonda kutandise ku ssaawa 4:30.”
Omuloodi Lukwago ategeezezza nti ebifo ebimu birondedde ddala nga obudde bugenze era nga alowooza nti kino kibadde kigenderere nga akakiiko k’ebyokulonda kamalamu abantu amaanyi baleme kwetaba mu kalulu kano.
Lukwago annyonnyodde nti ebikozesebwa mukulonda mubifo ebimu bituuse kikeerezi ate nga mu bifo ebirala obululu obwewerezeddwayo bubaddeko bifanaanyi bya bantu balala.
Ono agamba nti bino wamu nebyo ebyavudde mu kalulu k’obwapulezidenti biwaliriza abantu abamu okuzira okulonda kuno.
“Nva kulonda naye emivuyo egiri mubitundu ebyenjawulo, toyinza kulowooza nti NRM yagenda mu nsiko kutereeza nsonga za kalulu. Omuwendo gw’abalonzi omutono gulag anti abantu baggye obwesige mu kalulu,” Lukwago bw’agasseeko.
Lukwago annyonnyodde nti omulimu gusigadde eri kakiiko k’ebyokulonda okulaba nga okusalawo kw’abantu abalonze tekubagyibwako era nga asuubira okulangirirwa ku bwaloodimmeeya.
Ono mukalulu kano avuganya ne Nabilah Naggayi Ssempala owa NUP, Daniel Kazibwe owa NRM, omuyimbi Joseph Mayanja, Charles James Ssenkubuge owa DP awamu n’abalala.
Wadde nga abantu bangi bavaayo okulonda pulezidenti w’eggwanga n’ababaka ba palamenti ku luno abalonzi babadde batono ddala okwetoloola eggwanga.
Abalondesa mu bitundu eby’enjawulo balabiddwako nga batudde tewali balonzi ekyongedde okukakasa nti abalonzi babadde batono nnyo.