Bya Doreen Nakagiri
Bulange
Ab’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, bongezzaayo enteekateeka y’Ekisaakaate Gatonnya 2021 ekya Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ekibeerawo buli mwaka olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekikyatawaanya ensi.
Kino kirangiriddwa Minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza n’embeera z’abantu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu, bw’abadde mu lukung’aana lwa bannamawulire leero mu Bulange e Mmengo.
“Leero tusisinkanye okubategeeza nti omwezi guno ogwa Gatonnya tetusobodde kuteekateeka Kisaakaate kyaffe mu mwaka gwa 2021, kubanga tujjukira bulungi nti bwe twajjirwa Ssennyiga omukambwe, yakyusakyusa enteekateeka z’amasomero.” Owek. Nankindu bw’agambye.
Owek. Nankindu alaze nti tewali kubuusabuusa ku muwendo gw’abaana abawerako abayise mu mikono gy’abagunjuzi era nga bano bagenze mu maaso n’okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa.
Minisita Nankindu era asabye abazadde okukuumira amaaso ku baana naddala mu kiseera kino eky’ebyokulonda era bafube okulaba nga tebeetaba mu bikolwa bimenya mateeka olw’ebyobufuzi ebirinnye enkandaggo.
Ayongedde n’asaba abazadde okukozesa akaseera kano ng’abaana bakyali waka olwa Ssennyiga Corona, babasigemu empisa ez’obuntubulamu era bayige emirimu, kibayambe okubeera ab’omugaso eri eggwanga.
Ye Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi, ategeezezza nti baakusigala nga balondoola Abasaakaate okulaba nga bannyikiza ebyo ebyabasomesebwa.
Kinajjukirwa nti enteekateeka y’Ekisaakaate y’emu ku makubo agaateekebwawo Obwakabaka ne Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, okwongera okubangula empisa mu baana ba Buganda n’okwongera okubabangula mu mirimu gy’emikono.
Ekisaakaate kibeerawo buli mwaka mu mwezi gwa Gatonnya era nga guno gwe gubadde omulundi ogwe 15 ng’abaana ab’obuwala n’aboobulenzi babangulwa mu Kisaakaate kino.