• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro alung’amizza ku kulonda kw’Olwokuna

Gambuuze by Gambuuze
January 12, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro alung’amizza ku kulonda kw’Olwokuna
0
SHARES
40
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Bulange

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, avuddeyo n’alung’amya eggwanga ku kulonda okubindabinda era nga wano w’asinzidde n’akubiriza bannayuganda bajjumbire okulonda  newankubadde okunoonya akalulu kubaddemu ebirumira.

Katikkiro Mayiga nga ayogerako eri bannamawulire

Mu lukung’aana lw’abannamawulire lw’akubye enkya ya leero ku mbuga y’Obwakabaka e Bulange- Mmengo, Katikkiro ategeezezza nti abantu bwe balonda kibawa empagi kwe beesigama okubanja abo be balonze, ebintu bye baagala okubakolera.

 Agasseeko nti bw’olonda tolemwa kuyisaamu waakiri omu ku abo b’oyagala wabula n’abasaba bafeeyo nnyo okulonda abakulembeze abalimu ensa.

“Abantu abalimu ensa be bajja okutugasa, kubanga omuntu alimu ensa ategeera ebintu ebiruma bannayuganda. Omuntu alimu ensa tacamuukiriza bantu.” Bw’ategeezezza. Ayongeddeko nti abantu bafeeyo okulonda abalumirirwa omuntu wa bulijjo mu bwesimbu.

Mukuumaddamula mu ngeri y’emu avuddeyo n’asaba akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda  okw’amazima n’obwenkanya. Wano munnamateeka Charles Peter Mayiga, annyonnyodde nti okusobola okulaga obwerufu mu kalulu, akalulu kabalwe nga buli mubaka w’oyo eyeesimbyewo w’ali ate empapula eziraga ebivudde mu kulonda zikubwe ebifaananyi bazirage abantu. “Amazima n’obwenkanya tebyogerwako bw’ogerwa wabula birina okulabibwa.” bw’akkaatirizza.

Mu lukung’aana lwaleero, Katikkiro era agumizza abeesimbyewo nti basuubire okuwangula oba okuwangulwa. Wano w’asinzidde n’abategeeza nti bakuume emirembe kubanga Uganda ejja kusigalawo ng’akalulu kawedde.

Ab’ebyokwerinda, Katikkiro abasabye baleme kukozesa bukambwe bussukkiridde nga bakola omulimu gwabwe kubanga amaanyi tegalya. “Tufiiriddwa abantu bangi, tetusaana kufiirwa balala.” Bw’agambye. Wabula asabye n’abantu baabulijjo okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa baleme kulemesa bakuumaddembe kukola mulimu gwabwe.  Era nabo abasabye omulimu gwabwe bagukole awatali kusosola.

Katikkiro avumiridde nnyo enkola y’okutulugunya bannamawulire nga bakola ogwabwe n’ategeeza nti abo abatayagala kulabikira mu mawulire ku nsonga ezibatyoboola, beeyise bulungi. Era atenderezza omulimu gw’amawulire n’asaba gussibwemu ekitiibwa. Oweekitiibwa era asabye abantu ba Buganda okulonda abakulembeze abasoosowaza ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.