Bya Kintu Noah ne Stephen Kulubasi
Mawogola
Munnakibiina kya NRM, Salim Kisekka, eyeesimbyewo okukiikirira essaza lya Mawogola North mu Palamenti y’eggwanga akawang’amudde bw’akoze omukolo n’ayita abawagizi be n’abategeeza nga bw’ayabulidde ekibiina ky’aludde ng’akolerera. Abawagizi be era yabasabye bamugoberere mu NUP gy’alaze, bawagire Kyagulanyi Ssentamu eyeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina ekyo.
Ono nga yeesimbyewo ku bwannamunigina oluvannyuma lwa NRM okulemererwa okuwa omuntu yenna kkaadi y’okwesimbawo, bwe yali agivuganyaako ne Sodo Kaguta muganda w’omukulembeze w’eggwanga wamu ne Shatsi Kuteesa muwala wa minisita Sam Kuteesa, yalaze obwennyamivu nti ekibiina kyayolesa obusosoze ababiri abo bwe baaweebwa ensimbi za Uganda emitwalo ana buli mu bakube kakuyege kyokka ye ne batamuwa wadde omunwe gw’ennusu.
Kisekka era yategeezezza nti Pulezidenti Museveni ne Minisita Sam Kuteesa balina omululu gw’obukulembeze era mbu tebaagaliza muntu yenna kukulembera ggwanga okuggyako bo n’abenganda zaabwe.
Omukolo guno ogwategekeddwa ku kyalo Kawanga mu ggombolola y’e Mabiba, gwetabiddwamu ne musawo Kasozi amanyiddwa nga munna NRM lukulwe era nga naye yategeezezza nga bw’asaze eddiiro ne yeegatta ku Kyagulanyi wamu n’abalala 50.
Ono yavumiridde nnyo ekola y’okulonda abakulembeze mu nkola ey’okusimba mu mugongo.
Kinajjukirwa nti entalo z’ebyebyobufuzi e Ssembabule zeeyoleka nnyo mu kamyufu ka NRM, ekyawaliriza n’akakiiko k’ekibiina akalondesa okwongezaayo okulonda. Kino era kyawaliriza n’omukulembeze w’ekibiina, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, okubissaamu engatto n’agendayo babigonjoole wabula naye n’alemererwa okukakkana ng’ekibiina tekisimbyewo muntu.
Oluvannyuma abasatu bonna abaali bayaayaanira kkaadi y’ekibiina beesimbawo ku bwannamunigina.