Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ya Uganda erangiridde nga bw’etagenda kuteekawo muggalo ng’abamu ku bantu bwe babadde basabye okusobola okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona naddala mu kaseera kano ng’abantu beeyuna okugenda mu byalo okulya ennaku enkulu.
Minisita w’ebyamawulire era omwogezi wa Kabbineeti, Judith Nabakooba, yategeezezza bannamawulire eggulo ku Ssande nti gavumenti tegenda kuteekawo muggalo nga kano ke kaseera bannayuganda bafeeyo ku bulamu bwabwe.
“Tewagenda kubaawo muggalo mu kiseera kino eky’eggandaalo lya Ssekukkulu naye kafyu n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona byo bisigaddewo era musabiddwa okubeera abeegendereza ennyo.” Minisita Nabakooba bwe yagambye.
Nabakooba yannyonnyodde nti ebivvulu n’endongo tebigenda kukola era n’asaba abantu okumanya nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliyo ne mu kiseera kino ekya Ssekukkulu.
“Eri abo abagenda okugenda mu byalo, mugoberere ebiragiro, mwambale obukookolo n’okwewa amabanga, abakulembeze mu butale obwenjawulo balina okulaba ng’ebifo abayingira we banaabira engalo biddizibwawo.” Minisita Nabakooba bwe yakiggumizza.
Uganda mu kiseera kino etendewaliddwa olw’omuwendo gw’abalina Ssennyiga Corona okweyongera, Ssande we yatuukidde ng’abalina ekirwadde bali 31,187 ate 231 bakkiridde dda ewa Ssenkaaba.