Bya Gerald Mulindwa
Minisita w’amawulire Kabineeti, Olukiiko, era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, asabye abantu okukyusa mu nneeyisa yaabwe era bafeeyo ku bulamu bwabwe olutalo ku kirwadde kya Mukenenya bweluba lunaawangulwa.
“Okuggyako nga tukyusizza mu nneeyisa yaffe obulwadde buno buyinza okutubeerera obuzibu okwegobako kubanga bwo bugenda na nneeyisa.” Owek. Kiyimba bwe yasabye.
Okusaba kuno Minisita Kiyimba akukoledde ku Kasangati High School mu Kyaddondo bw’abadde aggalawo omusomo ku Mukenenya, obutabanguko mu maka wamu n’okutangira abaana abawala okufuna embuto, ogwategekeddwa Minisitule y’ekikula ky’abantu mu Buganda.
Abakulembeze abeetabye mu musomo guno abasabye okutwala ebibasomeseddwa ng’ensonga nkulu era bafube okubiyigiriza abalala era bafeeyo ku bantu be bakulembera, kiyambe okukendeeza ekirwadde kino.
Owek. Kiyimba yasabye bannayuganda okumanya ebyo ebikwata ku Mukenenya era beefumiitirize basobole okubulwanyisa era n
asabya abakulembeze mu kitundu kino okubeera abasaale ku nsonga eno era bajjukize abantu enjiri esobole okunnyikira.
Minisita Kiyimba asinzidde wano n’addamu okusiima Omutanda olw’okusiima okubeera emmunyeenye mu kulwanyisa Mukenenya era ng’essira liteereddwa ku baami era n’abakubiriza okunyweza omumuli.
Ono yabakubirizza okwewala obutabanguko mu maka kuba embeera eno erina akakwate n’okusaasaana kwa Mukenenya okweyongera. Yasabye wabeewo empuliziganya mu maka, kibasobozese okwekuuma.
Ono era yeebazizza Minisitule ya Buganda ey’ekikula ky’abantu, UNAIDS, TASO n’abalala, olw’okusomesa abantu b’Omutanda mu ssaza lino.