Bya Ssemakula John
Lubaga
Obwakabaka bwa Buganda, bukungubagidde Amb. George Kulwazi Naggaga eyaliko omuwandiisi ow’enkalakalira mu woofiisi ya Katikkiro, eyava mu bulamu bw’ensi eno gye buvuddeko.
Mu bubaka bwe bw’atisse omumyuka asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde akola obuteebalira, omunyiikivu era afaayo eri buli muntu.
Katikkiro Mayiga ategeezezza ng’Obwakabaka ne Uganda bwe bufiiriddwa ennyo.
“Omugenzi ajjukirwa olw’okubeera omuwulize eri Nnamulondo so ate ng’emirimu gye ng’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro yagikolera ddala bulungi.” Obubaka bwa Katikkiro Mayiga bwe busomye.
Abakungubazi ab’enjawulo abeetabye mu Mmisa esiibula Owek. William George Kulwazi Naggaga mu lutikko e Lubaga mubaddemu; Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ab’enju, abeebitiibwa okuva e Mmengo, abeebitiibwa abaawummula n’abakungu okuva mu gavumeti eyaawakati.
Omukungubazi omukulu era nga y’asomye obubaka bwa Katikkiro, Owek. Twaha Kigongo Kaawaase ku lulwe agambye nti gavumenti ya Uganda yafiiriddwa nnyo kubanga ono yaweereza mu bwesimbu era ng’abantu nga ye babadde tebakyasangika nga bambasada bangi ennaku zino bavumaganye ekifaananyi ky’eggwanga.
Bo ab’enju y’omugenzi nga bakulembeddwamu mukyala we Namuddu Naggaga, batenderezza omugenzi nga’omuntu abadde n’omukwano eri buli muntu era n’asaba abantu abalala okumulabirako.
Abakungubazi ab’enjawulo basiimye omugenzi Naggaga olwokuba omukozi era omukulembeze omulungi abadde ayagala ennyo Kabaka we wamu n’ensi ye Buganda.
Omugenzi Amb. William George Kulwazi Naggaga, yalondebwa okubeera omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro omulimu gwe yannyuka mu mwaka gwa 2019, era nga w’afiiridde ng’aweza egy’obukulu 74.
Ambasada Naggaga agenda kuziikibwa enkya ku Lwokubiri ku ssaawa 8 mu bitundu by’e Buloba.
Gutusinze nnyo Ayi Ssabasajja Kabaka.