Bya Francis Ndugwa
Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mbiri, olulimi, Obuwangwa n’ennono, Owek. David Kyewalabye Male, asabye bannabyabufuzi okuwang’ana ekitiibwa era bakimanye nti obukenke obuliwo tugenda kubuyitamu.
Okwogera bino, Owek. Kyewalabye bw’abadde ku mukolo ogufundikira okuwaayo Amakula omwaka guno okuva mu byalo bya Kabaka ogubadde mu Lubiri e Mmengo leero ku Lwokuna.
“Tusaba omutendera gwonna ogw’ebyobufuzi muwang’ane ekitiibwa, waliwo b’olaba nga bakozesa amaanyi amangi eri abatalina maanyi, tubasaba muddirize. Owek. Kyewalabye bw’agambye.
Owek. Kyewalabye ategeezezza nti waliwo abantu abakozesa amaanyi agasukkiridde ku abo abatalina maanyi kubanga ebikolwa nga bino byeraliikiriza bannansi.
Ono ajjukiza bannayuganda okumanya nti buli muntu yenna wa mugaso era buli bulamu bwa muntu bubeere bwa nsonga kubanga Uganda y’abantu bonna.
“Uganda ebeere ku mutendera ogutwala buli bulamu bwa muntu nti bwa nsonga. Bwe tubyogera nno waliwo abayisibwa obubi naye leediyo bw’ebika ne bwogiggyako tekigaana kuziika.” Owek. Kyewalabye bw’annyonnyodde.
Owek. Kyewalabye era akubirizza n’abatalina maanyi bakomye okukozesa olulimi olutyoboola ekitiibwa ky’abalala naye buli kimu kikolebwe olw’okuzimba n’okugatta bannayuganda.
Ku kirwadde kya Mukenenya ekyongedde okugoya abantu, Owek. Kyewalabye agambye nti ekiragiro kya Beene kyakulaba ng’abaami bakola buli kisoboka basobole okutaasa eggwanga era n’alabula abakyala obuteesuulirayo gwa nnagamba.
Omuwanika w’enkuluze, Omuk. John Baptist Kitenda, asiimye abantu abaleese Amakula mu mwaka gwonna era n’abasaba okwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona basigale nga balamu.
Omukungu Kitenda ategeezezza nti buli abantu lwe baleeta Amakula embuga, kibeera kikulu kubanga Obwakabaka bubeera bwongera okunywera.
Katikkiro w’ebyalo bya Ssaabasajja Kabaka, Moses Luutu, yeebazizza eggombolola zonna mu Buganda olw’okubumba n’okulabirira Nnamuswa mu kiseera kya Ssennyiga omukambwe.
Omwaka gw’Amakula gufundikiddwa n’eggombolola y’e Nakawa n’essaza lya Kyaddondo era ng’omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi ab’endowooza ez’enjawulo.