Bya URN
Eyeesimbyewo okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, Nancy Linda Kalembe, asuubizza okuteteeza ebyentambula singa anaalondebwa ku bwapulezidenti 2021.

Kalembe yategeezezza nti agenda kukulaakulanya entambula ku mazzi, eggaaliyoomukka n’enguudo kubanga enguudo eziriwo zaayungibwa ku bifo byokka ebirimu eby’obugagga, ebifo ebirala ne birekebwa ebbali
Kalembe annyonnyodde nti enteekateeka ye okusinga egenda kwetooloolera ku bantu, kisobozese abantu n’ebitundu okufuna mu bukulembeze bwe. Ono yalaze nti wansi w’omulamwa ogw’okutambulira awamu waakulaba ng’ebyentambula biyamba okutereeza ebyenfuna bya Uganda.
Omu ku bawagizi be, Juma Bwambale yategeezezza nti enteekateeka y’okutereeza ebyentambula erina okutwaliramu Boodabooda era bateekebweko amateeka baleme kugobaganyizibwa kubanga nabo mwe baggya eky’okulya.
Bwambale yawadde amagezi okukozesa eggaaliyoomukka kikendeeze ku kalippagano k’ebidduka naddala mu kibuga Kampala.
Omutuuze w’e Muyenga, Oliver Nakyeyune, yategeezezza nti ebyentambula mu Kampala bisobola okutereezebwa singa wabaawo enteekateeka ennung’amu.
Nakyeyune yagambye nti abeesimbyewo balina okulowooza ku kizibu ky’ettaka okulina okukolerwa enkulaakulana kuba ebiseera ebisinga gavumenti yeesanga ng’erina okusaasaanya ssente eziwera okuliyirira bannanyini ttaka.
Okusinziira ku mbalirira y’eggwanga eya 2020/2021 ey’obuse 45, obuse 5.8 bwaweebwa Minisitule y’ebyentambula nga bino by’ebitundu 13 ku buli 100.








