Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda Examinations Board (UNEB) kitegeezezza nti, abayizi abawera akakadde kalamba okutuula ebibuuzo wakati ng’eggwanga lirwanagana n’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Okusinziira ku UNEB, ku mulundi guno omuwendo gw’abayizi abookutuula ebibuuzo ebisembayo gweyongedde ebitundu 3.8 ku buli 100.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ssentebe w’akakiiko kano, Dan Odongo nga December 8 2020, kiraga nti omugatte gw’abayizi 1,181,666 be bawandiisiddwa bw’ogeraageranya n’abayizi 1,138,000 abeewandiisa omwaka oguwedde.
“Okwewandiisa kw’abayizi kwatandika nga 22 October oluvannyuma lw’amasomero okuggulwawo era ne kukomekerezebwa nga 30 November. Bano twabongeramu obudde okutuusa nga 7 December abayizi bonna basobole okwewandiisa n’amasomero aganaatuuza abayizi okwetegeka obulungi.” Odongo bwe yategeezezza mu kiwandiiko.
Odongo alagidde abakulira amasomero wonna mu ggwanga okutimba enkalala eziriko abayizi abeewandiisizza, kiyambe abayizi okukakasa n’okwekenneenya ebibakwatako oba by’ebyo ebituufu.
“Singa ensobi yonna ezuulibwa, zisobola okutereezebwa ku UNEB. Abayizi tubasaba beekenneenye engeri amannya gaabwe gye gaawandiikiddwa balabe oba matuufu, ensegeka yaago, obufaananyi bwabwe wamu n’ennaku z’obuzaale bwabwe awamu n’amasomo ge beewandiisizza okutuula awamu n’amasomero ge basabye.” Ekiwandiiko bwe kisomye.
Odongo yagambye nti abayizi abagenda okutuula PLE, ffoomu ezitereeza ensobi basobola bulungi okuzifuna nga bayitira ku mukutu gwa UNEB ku mutimbagano ate abatuula ebya UCE ne UACE essomero lirina okuwandiikira ekitongole butereevu nga litaddewo obujulizi ku nsonga eyo erina okutereezebwa.








