Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Kasule Lumumba, avuddeyo mu lwatu n’ategeeza nti yakwatiddwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Lumumba yeetwala mu kalantiini Ssabbiiti ewedde oluvannyuma lw’abamu ku bakozi b’akulembera okuzuulibwamu ekirwadde kino.
“Ntegeeza obukulembeze bw’ekibiina ne bannakibiina mu ggwanga lyonna nti nakebeddwa eggulo ne nsangibwa ne COVID-19, wadde nga siri mu mbeera mbi natandise ku ddagala era ndi mukujjanjabwa,” Lumumba bw’ategeezezza.
Kinajjukirwa nti ono yeetwala mu kalantiini Ssabbiiti ewedde oluvannyuma lw’abakugu okumuwa amagezi yeeyawule wakati ng’alinda ebiva ku kukeberwa ekirwadde kino.
Bino we bijjidde nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okulwanagana n’abamu ku bannabyabufuzi abakyalemedde ku ky’okukuba enkung’aana ez’abantu abangi nga banoonya akalulu ka 2021 poliisi ky’egamba nti kye kisinze okuvaako ekirwadde kino okusaasaana.