Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ategeezezza nti ekiremesa abaduumira poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuyimiriza enkung’aana z’ekibiina kya NRM ezikubibwa mu bukyamu, kwe kutya okufiirwa emirimu gyabwe.
Enanga ategeezezza nti wadde ekiragiro kya Ssaabaduumizi wa poliisi tekirina gwe kitaliza naye abamu ku bano bakikola olw’okuba batiitiizi era nga balowooza singa banaagaana aba NRM okukuba enkung’aana, bandigobwa ku mirimu ekintu ekitali kituufu.
Enanga ategeezezza bannamawulire olwaleero nti nga poliisi tebalina muntu yenna gwe balina kuttira ku liiso singa asangibwa ng’amenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
“Ssaabaduumizi yavaayo n’agamba nti omuntu yenna amenya amateeka avunaanibwe awatali kufaayo ku langi mwava.” Enanga bw’agambye.
Wabula ono agambye nti okwemulugunya okuva mu bantu nga kulaga ng’aba NRM bwe batakwatibwako, ekiraga obunafu obuli mu bakulira poliisi mu bitundu ebyenjawulo.
Enanga alaze nga poliisi bw’etalina ludda era n’amenya abamu ku bannakibiina kya NRM be bakutte olwokukuba enkung’aana ezimenya amateeka.
Ono agasseeko nga Minisita w’ebibiina by’obwegassi, Haruna Kasolo bwe yayitiddwa poliisi e Masaka era ng’enkya ya leero yeeyanjudde ku bigambibwa nti yakubye olukung’aana olunene ne lufiiramu n’omuntu omu ate abalala ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa.
Okusinziira ku Enanga bino byabadde Nabigasa ku Lwokutaano oluvannyuma lw’abawagizi ba Kasolo ne John Paul Mpalanyi, avuganya ku bubaka bwa Kyotera mu palamenti, okusisinkana ne batandika okulwanagana era poliisi n’ekuba amasasi okubagumbulula.
Enanga agamba nti Kasolo ne Mpalanyi bagenda kuvunaanibwa era nga fayiro zaabwe zitwaliddwa ew’omuwaabi wa gavumenti.
Ono alabudde bannabyabufuzi okufaayo ku bulamu bw’abantu baabwe era bakimanye nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliyo.