• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine alumbye Pulezidenti Museveni ku kuwagira okutulugunya bannansi

Gambuuze by Gambuuze
November 30, 2020
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine alumbye Pulezidenti Museveni ku kuwagira okutulugunya bannansi
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kyaggwe

Akwatidde ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine), alumbye Pulezidenti Museveni ku bigambo bye yayogedde ng’avumirira abeekalakaasa n’okubalabula obutakiddira.

Bobi Wine nga atabaala Nakifuma

Kyagulanyi bw’abadde anoonya akalulu mu bitundu by’e Mukono ku Mmande, agambye nti aba NRM bapangisa abavubuka ne babagatta mu bawagizi baabwe okukola effujjo  ku poliisi n’amagye okubavumaganya.

Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni eggulo bwe yabadde ayogerako eri eggwanga, okulabula abeekalakaasi abakuba abapoliisi okukikomya era n’awagira ekya bakuumaddembe abakuba amasasi mu okwetaasa oluvannyuma lw’okukwata Kyagulanyi eyali e Luuka mu Busoga ng’anoonya akalulu.

“Museveni yabadde ku ttivvi jjo n’agamba nti agenda kusasula abantu be battidde abantu baabwe naye abantu b’e Nakifuma ka mbabuuze, omuntu ayinza kusasula ssente mmeka okukuttira owuwo.” Kyagulanyi bw’abuuzizza abawagizi be.

Kyagulanyi ategeezezza ab’e Nakifuma okunyweza obumu nga tebafudde ku mawanga g’abantu kubanga bonna ebibaluma bye bimu.

Ab’eno Kyagulanyi abagambye nti olutalo lw’okuggya Museveni ku buyinza lugenda kubaamu okufiirwa n’okwelekereza era n’abakunga obutakomya kubanja ddembe lyabwe.

Kyagulanyi yayaniriziddwa ebikumi n’ebikumi by’abantu e Nakifuma, yavuddewo bubi n’abakuumaddembe obwedda abamugaana okukozesa enguudo zimwasa njala nga bagamba nti kijja kuleetawo akalipaggano k’ebidduka mu kitundu kino.

Abamu ku balonzi e Nakifuma Kyagulanyi bamusabye olutuuka mu ntebe asooke abakolerere ku by’obulamu, ebyenguudo wamu n’okubagobako obwavu obuyitiridde mu byalo byabwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist