Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo n’alabula abantu bonna abeetaba mu kwekalakaasa oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nti, ono si wakitalo atalina kukwatibwako.

Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga wali ku Mbale State Lodge gy’ali mu kunoonya obululu, yagambye nti abamu ku bannabyabufuzi nga bayambibwako abagwira baagala okulaga Uganda ng’ensi etalina Mirembe era erimu enfuga embi.
Museveni yannyonnyodde nti kino bakikola nga bayita mu kutulugunya bannaabwe, okusuula emisanvu mu kkubo wamu n’okwonoona ebintu.
Ono obwedda ayogera nga bw’alaga obutambi obwakwatibwa mu kwekalakaasa, yavumiridde ebikolwa bino aba Opozisoni bye bayita demokulaasiya n’ategeeza nti nga gavumenti tebagenda kubigumiikiriza.
“Abantu 54 baafiira mu kwekalakaasa kuno nga poliisi egezaako okubagumbulula nga ku bano 32 baali beekalakaasa. Abamu baakubwa amasasi mu butanwa ate ababiri ne batomerwa emmotoka oluvannyuma lwa ddereeva waayo okukubwa ejjinja n’emulemerera.” Museveni bwe yagambye.
Okusinziira ku alipoota eyamuweereddwa, Museveni agamba nti abantu abataano abattibwa mu bitundu by’e Nansana baali beekalakaasa era nga baali bagezaako okulumba poliisi.
Ku bumu ku butambi obwalaze abapoliisi ng’emmundu bazitunuza mu bantu bakuba amasasi, Museveni yannyonnyodde nti byali Nsangi omupoliisi Kidega gye yakubwa abeekalakaasa era abaalabibwa mu mmotoka ya Pick Up nga bakuba amasasi mu bantu baali bataasa mupoliisi ono.
“Okukubwa amasasi mu butanwa kubeerawo ng’olina gw’ogenderera okukuba naye n’otamukwasa olwo n’olumya abalala.” Museveni bwe yannyonnyodde.
Museveni yagasseeko nti, abawagizi ba Kyagulanyi kye baalina okukola ng’akwatiddwa kwe kulinda n’atwalibwa mu kkooti.
Ono yavumiridde eky’abawagizi be okukitwala nti talina kukwatibwako kubanga munnabyabufuzi era n’abalabula obutaddira kwekalakaasa.
Yasabye abalina amatu okuwulira era bakimanye nti tebalina gwe bayamba mu kukuuma amateeka n’emirembe.








