Bya Musasi waffe
Kampala
Ababaka 30 ku abo 457 abali mu lukiiko lw’eggwanga kyamala dda okukakasibwa nti tebagenda kudda mu Palamenti era nga kijja kubeera kizibu okubalaba nga bazzeeyo mu balonzi okubasaba akalulu mu kulonda kwa 2021.
Abamu ku bano basazeewo obutadda kwesimbawo nga beeyagalidde, abalala basazeewo obutadda oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu ne batayagala kwesimbawo ku lwabwe.
Ekitundu ku bano 30, baasooka kuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina kya National Resistance Movement Elections (NRM), abalala 8 basazeewo obutaddamu kwesimbawo.
Ku bano kuliko; Minisita w’ensonga z’ebweru, Sam Kuteesa eyasimbawo muwala we Shartsi Kuteesa, Minisita Raphael Magyezi naye yasalawo obutadda ate ng’omulala ye mubaka w’ekibuga kye Mbale, Jack Wamanga Wamai.
Abalala kuliko; Florence Namayanja era nga ye mubaka wa Bukoto East ng’ono ayagala bwammeeya bwa kibuga Masaka, Omubaka Winnifred Kiiza eyaakegatta ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’omubaka omukyala owa Buikwe, Judith Babirye eyagenda ebweru.
Ababaka babiri ku abo abataano abakiikirira abavubuka okuli Ishma Mafabi ow’abavubuka b’e Buvanjuba ne Oscar Omony ow’abavubuka mu bukiika kkono, nabo tebagenda kudda. Ate ng’abalala basazeewo balondebwe butereevu oba bavuganye ng’abakiikirira abakyala mu disitulikiti ez’enjawulo.
Abamu ku bano bategeezezza omukutu gwa URN ne balaga nga bwe bagenda okukola ebyabwe naddala okwenyigira mu bbizineesi zaabwe.
Omubaka w’ekibuga Mbale, Jack Wamanga Wamai, yategeezezza nti emivuyo mingi egiri mu kalulu n’olwekyo yasazeewo akeesonyiwe.
Yagambye nti okulwanagana okuli mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kwamutuusa ku bizibu bingi era nga yalumbibwa olw’okuwagira okuwaayo ekibira, basobole okugaziya ekibuga Mbale.
Ate omubaka Oscar Omony, yagambye nti bwe yawangulwa Tonny Awany ku bubaka bwa Nwoya, yasalawo obutavuganya ku lulwe. Yagasseeko nti agenda kwenyigira mu kulima.
Omubaka w’essaza lya Kumi, Charles Ilukor, yannyonnyodde nti akooye ebyobufuzi by’okuvuganya n’agamba nti bwe yawangula yajjukira nti yali asazeewo okumala mu palamenti ekisanja kimu era ng’agenda kwemalira ku bbizineesi ze.
Ababaka bano bagenda kusigala nga bafuna omusaala okutuusa mu mwezi gwa May, ababaka abapya lwe banaalayira.
Olukalala lw’ababaka abasazeewo obutadda
1. Robert Kyagulanyi, wa Kyadondo East 2. Sam Kutesa, Mawogola North 3. Winnie Kiiza, omubaka omukyala owa Kasese 4. Judith Babirye, omubaka omukyala owa Buikwe 5. Raphael Magyezi, Igara West MP 6. Jack Wamanga Wamai, Mbale Municipality 7. Nabila Naggayi, omubaka omukyala owa Kampala 8. Isham Mafabi, wa bavubuka mu Buvanjuba 9. Florence Namayanja, Bukoto East.
Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM
10. Evelyn Anite mubaka w’ekibuga kya Koboko 11. Charles Ilukor, mubaka wa Kumi 12. Oscar Omony, wa bavubuka mu bukiika kkono 13. Mary Karoro Okurut, omubaka omukyala owa Bushenyi 14. Musumba Isaac Isanga, mubaka wa Buzaaya 15. Moses Kizige wa Bugabula North 16. Nakate Lilian omubaka omukyala owa Luwero 17. John Bosco Lubyai 18. Abraham Byandala, owa Katikamu North 19. Peace Kusasira, omubaka omukyala owa Mukono 20. Benny Namugwanya,omubaka omukyala owa Mubende 21. Amos Mandera, owa Buyamba 22. Michael Tusiime , ow’ekibuga kya Mbarara 23. Lawrence Bategeka, ow’ekibuga kya Hoima 24. Muruli Mukasa, owa Budyebo 25. Mayanja Mbabali, owa Bukoto South 26. Henry Okello Oryem, owa Chua East 27. Grace Kwiyucwiny , omubaka omukyala owa Zombo 28. Adolf Mwesigye, owa Bunyangabu 29. John Byabagambi, owa Ibanda South P 30. Gabriel Ajedra, ow’essaza lya Vurra