Bya John Ssemakula
Bulange – Mmengo
Mukuumaddamula w’Obwakabaka, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti ekimu ku by’obugagga Uganda n’omulembe Omutebi bye gulina, bye by’emizannyo.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu bimuli bya Bulange bw’abadde atongoza empaka z’emipiira gy’amasaza egy’omwaka guno, leero ku Lwokubiri.
“Omulembe Omutebi guzze n’ebyagwo ebipya, n’okubangula abantu era kaakati tukimanyi nti ekimu ku by’obugagga Uganda by’erina gy’emizannyo. Atannaba kukimanya tannayingira mu mulembe guno Omutebi.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agambye nti ebyemizannyo kya Buganda ekisinga ebbeeyi kubanga kibeera kitone ekyekwese mu muntu era singa akivumbula kibeera kizibu okuvuganya naye.
Mayiga akubirizza abavubuka okuvumbula ebitone byabwe ng’obudde bukyali, kubanga ebyemizannyo biraze nti bisobola okugatta abantu yonna gye bali awatali kufa ku byabufuzi wadde amawanga.
Ategeezezza ng’emizannyo bwe biyambye okutumbula erinnya lya Uganda okwetooloola ensi era n’awa ebyokulabirako okuli; Denis Onyango, Farouk Miya, Joshua Cheptegei, Kiprotich, Halima Nakaayi n’abalala.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti mu mulembe guno Omutebi, ebyemizannyo byakukwatibwanga nga ekyobugagga era babikulaakulanye nga baagazisa abantu okukyettanira.
Alaze nti Obwakabaka bwetegese emipiira gino okuzannyirwa mu nkola ya ssaayansi nga gigenda kulagibwa butereevu ku BBS Terefayina era n’asaba abantu bonna okugigoberera.
Minisita Henry Kiberu Ssekabembe asiimye abavujjirizi okuli; Centenary Bank, UNAIDS, Airtel ne Fufa olw’okuvaayo ne beenyigira mu nteekateeka eno naddala mu mbeera eno eya Ssennyiga Corona.
Ssekabembe agambye nti ku mulundi guno omulamwa gw’emipiira gino gugenda kubeera ku kukulembeza abaami okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya kisobole okutaasa abaana ab’obuwala.
Ono yeebazizza Obwakabaka ne Bannamikago olwokulaba ng’ekikopo kino kibeeerawo.
Ku mpaka z’omulundi guno, Obwakabaka bweyamye okukebera abazannyi bonna ekirwadde kya Ssennyiga Corona, okusuza ttiimu zonna ku Fufa Technical Center e Njeru, okuliisa ttiimu zonna n’okusasulira ttiimu zonna ensimbi z’okwewandiisa.
Mu birala kwe kuwaayo ensimbi obukadde 4 eri buli ttiimu okusobola okwetegeka n’okuzitambuza, okuwaayo ebikozesebwa ng’emipiira wamu n’okulaba nti omupiira gulagibwa ku BBS Terefayina.
Owek. Ssekabembe agasseeko nti abantu wansi mu byalo balina okukwasizaako ttiimu zino ku nsonga z’ensako y’abazannyi wamu n’ensonga endala Obwakabaka ze butasobodde kukolalako.
Okusinziira ku nteekateeka y’okuggulawo emipiira gino, Butambala egenda kwambalagana ne Bulemeezi wali ku kisaawe kya Fufa Technical Centre e Njeru nga 12/ Dec/2020.