Bya John Ssemakula
Bundibugyo
Ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Bundibugyo bagaanye abawagizi ba Robert kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okutuuka mukifo awalina okubeera olukungaana.

Kyagulanyi abadde asuubirwa okubeera mu kifo kino olunaku lwa leero ku Lwokubiri era olukungaana lulina kubeera ku kisaawe kye Kirumya.
Omu ku bawagizi bano Vincent Baluku ategeezezza nti poliisi n’amajje basudde emisanvu mu buli luguudo olutuuka ku kifo kino walina okuba olukungaana.
Baluku annyonnyodde nti ab’ebyokwerinda babategeezezza nti bafunye ebiragiro okuva ewa RDC okulondobamu abalina okuyingira mu kifo kino.
“Batandise okukozesa obukodyo bw’okutulwisa basobole okuyisa obudde, obwedda abantu bajja nebabazaayo, akakubo akajja wano bakasazeeko nakawali bakasazeeko,” Baluku bw’annyonnyodde.
Omuwagizi omulala Amis Haruna agambye nti eby’okwerinda bino bibadde abadde yaludde okubiraba neyewuunya lwaki poliisi eyungudde abapoliisi bano bonna.
Omulala Tuhairwe Asiimwe ayagala ab’ebyokwerinda babakomeko era baggule amakubo agalina okutuuka ku kisaawe kino.
Akulira NUP mu Bundibugyo, Franklin Muhindo agambye nti batudde n’abatwala eby’okwerinda mu disitulikiti eno nebakkanya naye yeewunyizza lwaki basazeewo okulemesa abawagizi babwe kati.
Ono agambye nti bakugenda mu kifo ekirala kyebalaba nti abantu baabwe basobola okutuukawo.









