Bya Mugeere Emmanuel
Bulemeezi
Ebbugumu lyeyongedde mu Bannabulemeezi nga balindirira okwetaba mu misinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’okubeerawo nga 29/ 11/ 2020 mu Lubiri e Mmengo era nga Beene asiimye okusimbula abamu ku bantu abagenda okugyetabamu.

Omwami wa Nnyinimu atwala essaza lino, Kkangaawo Ronald Mulondo, yafulumizza enteekateeka enaagobererwa abanadduka emisinde gino mu ssaza ly’e Bulemeezi mu Luweero.
Kinajjukirwa nti, emisinde gino gyali gyakuddukibwa mu mwezi Gwokuna naye olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona, Omutanda yasiimye giddukibwe mu mwezi guno wansi w’omulamwa ogwa ‘Abasajja ffe basaale mu kulwanyisa Mukenenya, tutaase abaana abawala’.
Okusinziira ku nteekateeka, buli ssaza lijja kuddukira mu kitundu kyalyo mu nkola eya ssaayansi wadde nga Nnyinimu yasiimye okusimbula abantu abatono okwawukanako n’enkola bw’ebeera bulijjo.
Wansi w’okulambikibwa kuno, Kkangaawo agamba nti bategese emisinde mu buli ggombolola okutuuka wansi mu byalo ebyenjawulo ebiri mu ssaza lino.
Mulondo yasabye abantu okwongera okugula emijoozi era bayitira mu makubo amatuufu, kiyambe okutambuza obulungi emirimu gy’Obwakabaka.
Kkangaawo yabajjukizza ku lunaku mulindwa okweyambisa tekinologiya bakwate obutambi babuwanike ku mutimbagano, ensi yonna esobole okugigoberera wamu n’okwongera okumanyisa ku kirwadde kya Mukenenya.








