Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, leero agenyiwaddeko ku kitebe ekikulu ekya bbanka ya DFCU mu Kampala mu kaweefube w’okwetegekera emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ssabbiiti ejja.
Ku bugenyi buno Kamalabyonna awerekeddwako Omumyuka asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase, Minisita w’ebyemizannyo Henry Kiberu Ssekabembe n’abalala.
“Tuzze wano kubanga DFCU munnamukago munnaffe mu lutalo lwe tuliko okuzza Buganda ku ntikko ne Uganda okukulaakulana.” Mayiga bw’ategeezezza.
Ono agambye nti mu nsonga za Buganda Ssemasonga ettaano, ennyingo eyookuna ekwata ku byabulamu era nga wano Beene we yasinziira n’alagira bisoosowazibwe.
Mayiga agambye nti Nnamunswa yasiimye omwaka guno n’emyaka ebiri eginaddako essira liteekebwe ku kawuka akaleeta Mukenenya.
Kamalabyonna asinzidde wano n’ategeeza nti okwolesebwa kwa Buganda kwe kulaba ng’omuntu asembayo wansi abeera wadde waddeko mu mbeera ze ez’ebyobulamu.
Owek. Mayiga agambye nti ekitongole kya bbanka kyonna nga DFCU kirina okufaayo okulaba nga bakasitoma baakyo babeera balamu nga balwanyisa ekirwadde kya Mukenenya era bategeere amakubo Siriimu mw’akwatira wamu n’engeri gy’asobola okujjanjabwa.
Kamalabyonna Mayiga yeeyamye okulaba nga omukago gwa DFCU ne Buganda guvaamu ebibala era gugase enjuyi zombi.
Ssenkulu wa DFCU omukungu, Mathias Katamba, agambye nti ekirwadde kya Mukenenya kikosezza amaka ag’enjawulo era nga kisinze kukosa bavubuka abawala n’abalenzi nga waliwo obwetaavu okukirwanyisa.
Omukungu Katamba annyonnyodde nti ekimu ku bigendererwa kwe kusikiriza abasajja okwekebeza era abo abasangiddwa n’ekirwadde batandike eddagala olw’obulamu obulungi.
Ono ategeezezza nti bbanka eno eyagala okulaba ng’abantu mu ggwanga babeera balamu kiyambe ebyenkulaakulana okukula.
Omukungu Katamba asabye abantu okwenyigira mu misinde gino wakati mu kwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Aba bbanka ya DFCU baguze emijoozi egiwerako era ne beeyama okwongera okuwagira olutalo lw’Obwakabaka ku kirwadde kya Mukenenya.