Bya Musasi Waffe
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde abantu abeekalakaasa nga bawakanya okukwatibwa kw’Omubaka era eyeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi ssentamu (Bobi Wine), nti tebagenda kubaganya.
Kino kiddiridde Poliisi okukwata n’eggalira Kyagulanyi e Nalufenya mu Jinja ku bigambibwa nti yamenye ebiragiro bya Ssennyiga Corona.
Oluvannyuma lw’amawulire okuwulira nti yabadde akwatiddwa abantu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo naddala mu bibuga batandise okwekalakaasa era okukkakkana ng’abantu abawera 7 we butuukidde olwaleero nga bafiiridde mu buvuyo buno, obuyingidde olunaku olwokubiri.
Bw’abadde ayogerako eri bannakibiina kye ekya National Resistance Movement (NRM) mu Kotido olwaleero, Museveni agambye nti gavumenti ye tegenda kukkiriza beekalakaasa mu ngeri y’ekiyaaye n’ategeeza nti bajja kukolwako.
“Batandise okutulwanyisa naye ate okulwana tukumanyi bulungi. Oyo yenna eyatandise kino agenda kukyejjusa. Obumu ku bubinja buno bukozesebwa abagwira abatayagala mirembe giri mu Uganda naye bajja kufuna kye banoonya.” Museveni abadde tasalikako musale bw’agambye.
Museveni annyonnyodde nti waliwo abalabiddwako nga batulugunya abantu ababadde mu langi za NRM naye mu bwangu bagenda kukimanya nti bannakibiina kino tebazanyirwako.
Ono agamba nti ebiragiro byateekebwawo okusobola okutaasa abantu ekirwadde kya Ssennyiga Corona era n’ategeeza nti kibeera kya busiru abamu ku bannayuganda okubiziimuula.
Obukambwe obuli mu bigambo bya Pulezidenti era nga ye muduumizi w’ebitongole by’ebyokwerinda eby’oku ntikko, bulaga nti gavumenti yaakukola buli kimu okulaba ng’ezza embeera mu nteeko.
Bino we bijjidde ng’abamu ku bannakibiina kya NUP abaakwatiddwa awamu ne Kyagulanyi, baamaze dda okusimbibwa mu kkooti e Iganga okuwerennemba n’emisango egibagguddwako.