Bya Ssemakula John
Luuka
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okwetooloola Buganda ne Uganda, basabiddwa okujjumbira okugula obujoozi bw’emisinde gy’Amazaalibwa egy’omwaka guno, kiyambe okulwanyisa endwadde ya Mukenenya.
Obubaka buno bwaweereddwayo Omumyuka asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, bwe yabadde akwasa abantu ba Kabaka abawangaalira mu Busoga emijoozi 100 gye baaguze ku mbuga e Bulange Mmengo.
Mu ngeri y’emu Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa naye yakwasizza aba Ndejje Divizoni emijoozi 40, nga gino gye bagenda okukozesa ku lunaku Mulindwa.
Mu kwogerako n’abantu ba Kabaka, Owek. Prof. Kaawaase yagambye nti, “Ensonga gye tuliko nsonga nkulu nnyo nga si ya Buganda yokka wabula Uganda yonna n’ensi yonna kuba nsonga ya byabulamu.”
Owek. Kigongo yannyonnyodde nti ensimbi eziva mu misinde gino bagikozesa okutumbula ebyobulamu.
Ssentebe w’Abaganda abawangaalira mu Busoga, Jane Nakyingi, akunze abantu ba Kabaka okwetaba mu misinde gino si nsonga baganda oba si baganda.
Okusinziira ku Minisita Waggwa Nsibirwa, Omutanda yasiimye okusimbula abantu abatonotono mu Lubiri lwe e Mmengo ng’ennaku z’omwezi 29/Nov/2020.
Owek. Waggwa yakikkaatiriza nti abantu abalala bajja kuddukira mu bitundu byabwe gye banaabeera olw’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Eyakuliddemu abakulembeze b’e Ndejje, Sulaiman Ssejjengo, yagambye nti beetegese okudduka emisinde mu kitundu kyabwe era nga bagenda kusimbulwa ku Kitawuluzi era maapu y’ebifo gye bagenda okuyita egenda kufulumizibwa mu bwangu.
Omutanda yasiima emisinde gy’omulundi guno giddukirirwe wansi w’omulamwa gw’okusoosowaza abaami mu lutalo lw’okulwanyisa akawuka ka Siriimu.