Bya Gerald Mulindwa
Bulange- Mmengo
Omumyuka w’Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, akubirizza abantu ba Kabaka abaleese oluwalo, okulima bye bategeera baleme ku buzaabuzibwa nga babagamba okulima bye batategeera.
Obubaka buno, Owek. Lwasa abuwadde atikkula oluwalo lw’obukadde obusobye mu bukadde 24 mu bimuli bya Bulange ku lwa Katikkiro okuva mu ggombolola agavudde e Bulemeezi, Buddu, Kooki ne Mawokota leero ku Lwokubiri.
“Mwenyigire nnyo mu kulima bye mutegeera, muleme kubuzaabuzibwa na kulima bye mutategeera, abategeera ennaanansi gy’oba olima, ategeera emmwanyi naawe gy’oba olima kubanga bangi bagitegeera,” Owek. Lwasa bw’agambye.
Abasabye okulima mu bungi kibayambe okutundako bafune ku ssente so si kulima kutuusa mukolo.
Owek. Lwasa abagambye nti ke kaseera okwenyigira mu nteekateeka y’okulima emmwanyi, okulima ebitooke n’ebirala basobole okutwala Buganda mu maaso.
“ Katikkiro atukubirizza nnyo okulaba nti tubeera abakozi tubeere ne jjamba era baleme okutugaya.” Owek. Lwasa bw’abasabye.
Asabye abazadde okutambuliza abaana mu mpisa, kibayambe mu bulamu bwabwe obw’omu maaso.
Ye Minisita Joseph Kawuki, abaleese oluwalo abasabye okwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona baleme kubuusabuusa era baleme kugezesa ku kirwadde kino, naye bakigobere wala.
Kawuki asiimye abaami ba Kabaka olw’okwongera okwagazisa abantu ba Kabaka okukyala embuga nga baleeta oluwalo.
Abasabye okujjumbira emisinde gy’amazaalibwa egy’omulundi guno nga bagula obujoozi bw’emisinde gino.