Bya Musasi Waffe
Kampala
Bbanka ya Stanbic ekwataganye n’ekitongole ky’ensi yonna ekya United Nations n’ebibiina ebirala, okuyamba bannayuganda banneekoleragyange abakosebwa embeera y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona eyagootaanya emirimu gyonna mu ggwanga.
Kino bakiyisizza mu nteekateeka etuumiddwa ‘Economic Enterprise Restart fund (EERF)’ ng’egendereddwamu okuwa banneekoleragyange, abalina obukolero obutonotono, ebibiina by’obwegassi wansi mu byalo ne SACCO, ensimbi ku magoba amatono ennyo basobole okudda engulu mu byenfuna.
Bino byayogeddwa omukungu wa bbanka ya Stanbic, Anna Jjuuko, bwe yabadde ku mukolo gw’okutongoza EERF ku wooteeri ya Sheraton mu Kampala.
Jjuuko yagambye nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona bwe kyabalukawo, kumpi buli mulimu gwesiba era ng’abantu abamu bbiizineesi zaabwe zaagwa n’ensimbi za Kapito ze baalina baazirya ne ziggwaawo ng’eno y’ensonga lwaki bakwataganye ne UN, okusobola okubaddaabulula.
Ono yagasseeko nti baakuyamba banneekoleragyange n’abasuubuzi okubawa amagezi g’ekikugu n’okubasomesa ku ngeri gye basobola okukozesa tekinologiya w’omutimbagano okutumbula bbiizineesi zaabwe.
Enteekateeka eno yaakusobozesa bannabbiizineesi okufuna obuyambi mu by’ensimbi, kiyambeko okutondawo emirimu, kikendeeze ku bwavu obuli mu bantu wansi mu byalo n’obutawuni.
Okusinziira ku Jjuuko, bannabbiizineesi baakuganyulwa nga bafuna kapito, bagaziye ku nnyingiza yaabwe, kibayambe okutereeza bbiizineesi zaabwe, emirimu gyabwe, gisobole okutambula obulungi.
Abakugu bagamba nti kino kigenda kuyamba abantu okuva mu mbeera y’okusoberwa eya Ssennyiga Corona era eyambe gavumenti n’abakola amateeka okukung’aanya ebikwata ku bannabbiizinees, kibanguyize okuteekerateekera eggwanga.
Akulira ekitongole kya UN mu Uganda, Rosa Malango, yagambye nti basazeewo okukwatagana n’ebitongole by’obwannannyini nga bbanka ya Stanbic, okuyamba ku bantu abakosebwa ennyo ekirwadde kya Ssennyiga Corona era nga basuubira amakampuni amalala okubeegattako, okukyusa embeera.