Bya Musasi waffe
Rukungiri
Eyeesimbyewo ku bwapulezidenti, Lt. Gen Henry Tumukunde, yeetondedde bannayuganda ku nsobi ze yakola ng’akyali mu gavumenti, n’asaba bamusonyiwe era bamwesige.

Okwetonda kuno, Gen. Tumukunde, yakukoledde Rukungiri ku Lwokubiri n’annyonnyola nti mwetegefu okukolagana n’omuntu yenna ayagala okuleeta enkyukakyuka mu Uganda, singa abeera aweereddwa omukisa okufuuka Pulezidenti wa Uganda.
“Kano ke kaseera ke tulina okukyusizaamu eggwanga lyaffe Uganda. Ndi mwetegefu okukola n’abantu abamaze mu Opozisoni emyaka 10 ate nabo abaakagiyingira ku lw’obulungi bwa Uganda.” Tumukunde bwe yagambye.
Tumukunde yannyonnyodde nti enteekateeka y’okufuna avuganya omu ku bwapulezidenti ekyagenda mu maaso, era n’abasaba okuwagira omuntu yenna anaaba alondeddwa.
Ono yasabye abantu okuvaayo mu bungi balonde ku lw’enkyukakyuka era bafube okulaba nga bakuuma obululu bwabwe, buleme okubbibwa.
Okusooka waabaddewo okuwanyisiganya ebisongovu oluvannyuma lwa poliisi okukuba mu bawagizi ba Tumukunde ttiyaggaasi, bwe baabadde bakung’aanidde mu kifo ewaabadde walina okubeera olukung’aana luno.
Poliisi yategeezezza nti bano baabadde bajeemedde ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda ne Minisitule y’ebyobulamu
Wabula Tumukunde yagambye nti ennamba y’abantu be yabadde nabo yabadde ntono ddala nga tewaabadde nsonga lwaki poliisi yabadde etabangula emirembe gyabwe.
Tumukunde yasuubizza okutereeza ebyenjigiriza wamu n’ebyobulamu mu disitulikiti eno ng’abazimbira Ssettendekero n’eddwaliro eddene mu Rukungiri.









