Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’eggwanga egamba nti tegenda kusibamu kukwata bakanyama ba beesimbyewo singa tebakoma kubakozesa kukunga bantu n’okujeemera ebiragiro bya kakiiko k’ebyokulonda ne Minisitule y’ebyobulamu, ebirung’amya okunoonya akalulu ka 2021.

“Ebiragiro bino byonna bisoboka bulungi singa ffenna tweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizbwa. Abeesimbyewo n’ebibiina by’ebyobufuzi ebikunga ababoodabooda n’obukundi bwa bakanyama okuyisa ebivvulu n’okukuba enkung’aana, tugenda kubwakwata bavunaanibwa mu mateeka.” omwogezi wa Poliisi Fred Ennanga bwe yagambye.
Ennanga era alabudde abantu abalemedde ku by’okutimbula ebipande bya bannaabwe n’ategeeza nga kino bwe kivudde ku kujeemera ebiragiro ebyabaweebwa ku wa awatuufu awalina okutimbibwa ebipande.
“Bw’otambula, olaba ebipande ebiteekeddwa ku bupande bw’oku nguudo, mpagi za kkamera n’ebizimbe by’abantu. Singa Nannyini kizimbe atandika okutimbululayo ebipande okuva ku bisenge, tewali musango gw’ajja kuba ng’akoze kubanga byateekebwawo awatali kufuna lukkusa.” Ennanga bwe yagasseeko.
Ennanga yagambye nti batadde amaaso ku bannabyabufuzi abakozesa olulimi olukuma mu bantu omuliro n’okusiga obukyayi mu bantu gye bali mu kunoonya obululu.
Ono yannyonnyodde nti bakwataganye n’ekitongole kya Uganda Communications Commission (UCC), okugoberera abatambuza obubaka obw’obulimba wamu n’okusiga obukyayi nga bayitira mu mawulire ne ku mutimbagano.








