• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ebikolwa eby’obukambwe bizaala bukambwe – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
November 10, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Ebikolwa eby’obukambwe bizaala bukambwe – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde ku bikolwa eby’obukambwe ebisusse mu kaseera kano ak’okunoonya akalulu, n’ategeeza nti ebikolwa bino bizaala bukambwe era nga bino bwe bibeerawo, tebirina gwe bitaliza.

Katikkiro Mayiga nga aliko bakwasa ebiwandiiko ab’eggombolola

Okwogera bino, Kamalabyonna abadde atikkula oluwalo lwa bukadde 25 okuva mu ggombolola ezivudde mu Busiro, Buddu, Kyaddondo n’abantu Sekinnoomu, abakiise Embuga leero ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange.

“Ebikolwa eby’obukambe bizaala bukambwe ago g’emazima. Ab’ebyokwerinda ku mulembe gwa; Amin, Obote ne Okello, baakyayibwa nnyo lwa kutulugunya, lwa ttemu, ne gavumenti ezo abantu ne bazikyawa olw’ebyo. Kati ab’ebyokwerinda abatulugunya abantu bakyayisa gavumenti ne we kiteetaagisa.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga akuutidde abalonzi okulonda abeesimbyewo abanaasobola okwogerera ensonga z’ebitundu byabwe wamu n’okulwanirira ensonga za Buganda, Ssemasonga ettaano, kisobole okubakulaakulanya n’okuzza Buganda ku ntikko.

Ono akuutidde abantu okulwanyisa obwavu kubanga omuntu atalina nnyingiza yonna, taweebwa kitiibwa.

Mukuumaddamula akunze abantu okugula emijoozi gy’emisinde gya ‘Kabaka Birthday Run,’  kisobozese Beene okutwala mu maaso kaweefube w’okutumbula eby’obulamu.

Ono akkaatirizza ng’omwaka guno n’ogujja, essira bwe liteereddwa ku kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya, ng’abaami be balina okuba abasaale.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, asiimye abakiise Embuga naddala bannabyabufuzi okuli; Mmeeya Lumbuye ne Nassolo Eugenia, Paul Owor awamu n’abalala, olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Owek. Kawuki ategeezezza Katikkiro nga bannalwengo bwe beekolamu omulimu ne batandika okusiga ensimbi nga kati bakunukkiriza okuweza obuwumbi bubiri obwa ssente.

Eggombolola ezikiise Embuga kuliko; Ssaabawaali -Kasanje, Ssaabaddu -Katabi (Busiro), Mutuba XIII Kisekka, Musaale -Butenga (Buddu), Ssaabagabo- Lufuka (Kyaddondo), Buganda Youth Council Butambala, Lwengo Development Sacco, Owek. Kato Kajubi (New England), Omumbejja Nassolo Eugenia, ne Paul Owor.

Abakiise Embuga baguze emijoozi, ssatifikeeti era ne baweebwa n’ebipande  ebiyamba okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist