Bya Ssemakula John
Kampala
Nga tusemberera okutuuka ku ntikko y’omukolo gw’okutikkira Nnalulungi w’ebyobulambuzi (Miss Tourism), aba Miss Tourism bakwataganye n’aba Uganda Airlines okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga.
Bino we bijjidde ng’abantu bonna bali bulindaala okulaba ani anaawangula engule y’omwaka guno ku mukolo ogugenda okukolebwa mu ngeri ya ssaayansi ku wiikendi eno.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire Entebbe olunaku lw’eggulo, akulira bakitunzi mu Uganda Airlines, Sylvia Kaggwa, yagambye nti bannalulungi bano baakuyamba okutunda Uganda mu nsi yonna wakati nga ne Uganda Airlines egezaako okugaziya eng’endo zaayo.
Kaggwa yagasseeko nti basuubira okugattako eng’endo ezigenda mu Bulaaya, ekyombo ky’abuwarabu wamu ne Asia era nga basuubira okutuusa ennyonyi ya Airbus A330 mu mwezi gwa December.
Ssenkulu wa Miss Tourism Uganda, Allan Kanyike, yagambye nti ku mulundi guno batambulidde ku mulamwa gwa, Obulungi, amagezi n’enkyukakyuka era n’alaga nti bagendereddemu okulaba nga batumbula eby’obulambuzi munda mu ggwanga.
Kanyike yasabye bannansi okulaba nga basikkiriza ensi yonna okujja okumanya ebibakwatako kiyambe okutumbula eby’obulambuzi.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Carol Nalinnya, yagambye nti abayiseemu okutuuka ku mpaka ez’akamalirizo, baakwongera okusikiriza abakyala okusituka mu mbeera zaabwe era bongere okwenyigira mu by’obulambuzi.
Nnaalinnya yategeezezza nga omuwanguzi bw’agenda okulambuzibwa ebifo bya Buganda byonna ebyobulambuzi era afune n’omukisa okwogeramu ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga.
Abavuganya ku mutendera ogusembayo kuliko; Jean Corprise Akullo, Amaniyo Charity, Kyomugisha Sonia, Agwang Prossy Permah ne Atuheire Sheevon.
Okusinziira ku Kanyike, Phiona Bridget Kyeru eyawangula empaka z’omwaka oguwedde, waakuweebwa ekyapa ky’ettaka n’emmotoka era nga bino bigenda mukwasibwa ku lunaku lwa Ssande eno.