Bya Noah Kintu
Ssembabule
Bannakibiina kya National Unity Platform e Ssembabule bali mu kattu oluvannyuma lw’eyawangula kkaadi ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Ssembabule, Zaitun Yahaya Babikola, okuva mu lwokaano ng’ebula mbale okuwenja akalulu kutandike.

Babikola bino abikakasizza mu bbaluwa gy’awandiikidde ekitebe kya NUP ng’abategeeza nga bw’avudde mu lwokaano era tasuubira kwesimbawo ku kifo kyonna.
Kino kibeera kitegeeza nti Mary Begumisa gw’abadde agenda okuvuganya naye ku kifo kino asuuliridde okwewangulira ekifo kino.
Zaitun Babikola ategeezezza nti ekimuwalirizza okuva mu lwokaano lw’ekibiina kya NUP, kwe kulemererwa okumuwa ssente zanaakozesa mu kkampeyini. Ono agamba nti awandiikidde Ssaabawandiisi w’ekibiina ebbaluwa era ng’alinze amuddemu n’oluvannyuma ategeeze akakiiko k’ebyokulonda mu butongole nti avudde mu lwokaano.
Omwogezi wa NUP mu disitulikiti y’e Ssembabule, Ibrahim Mpuuga, akakasizza bino n’agamba nti kibamazeemu amaanyi okufiirwa ekifo kino. Mpuuga alabudde nti baakwongera okukuba ttooci mu bantu abaagala kkaadi y’ekibiina mu maaso okwewala ebintu nga bino.
Akulira ebyokulonda mu disitulikiti y’e Ssembabule, Barbra Mulimira, ategeezezza nti tannafuna bbaluwa mpandiike mu butongole eraga nga ono bwavudde mu lwokaano era nga talina ky’asobola kwogera ku nsonga eno okutuusa ng’afunye ebbaluwa eno.









