Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde abaagala okutaataaganya akalulu ka 2021 n’ategeeza nti gavumenti ye yeetegese okwambalagana n’omuntu yenna anaagezaako okutabula akalulu kano.
Okulabula kuno Museveni akukoze ku Mmande e Kyambogo ng’ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma lw’okukakasibwa akakiiko k’ebyokulonda ng’omu ku bantu abagenda okuvuganya ku ntebe ennene mu kalulu ka 2021.
Museveni agamba nti bafunye amawulire ng’abamu ku beesimbyewo bwe bategese okutaataaganya akalulu kano bw’anaaba anoonya okweddiza entebe eno omulundi ogw’omukaaga.
“Nsaba Bannayuganda mukuume emirembe mu kalulu kano.” Pulezidenti Museveni bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti wadde yeesimbyewo naye era y’akyali Pulezidenti era ng’afunye amawulire ku bamu ku bantu abaagala okutaataaganya akalulu kano n’ategeeza nti tebagenda kubaganya kutabangula mirembe gy’abantu gye baalwanirira.
“Tewali muntu atusinga bwe kituuka ku kulwana. Tuwulira abantu abali mu kukolagana n’amawanga g’ebweru. Tewali mugwira agenda kutabangula mirembe wano, mugenda kufiira bwereere awatali nsonga.” Museveni bw’annyonnyodde.
Museveni agumizza abawagizi be obutakkiriza kutiisibwatiisibwa ba ludda luvuganya era n’abasaba baddukire mu b’obuyinza singa ebikolwa bino bibeerawo.
Museveni akubirizza abantu okunyweza ebiragiro bya COVID-19 kubanga buli lukya kyeyongera ng’abantu 110 baamaze dda okulugulamu obulamu ate ng’abakwatiddwa ekirwadde kino banaatera okuwera emitwalo 2.