Bya Gerald Mulindwa
Munyonyo
Kamalabyonna w’Obwakabaka, Charles Peter Mayiga, asabye abafumbo bulijjo okukimanya nti obufumbo busukka ku mikolo gy’embaga wabula kubeera kubeeragana.

“Okubeera omuntu olina okwetegeka kubanga obuwanguzi bujjira yeetegese, mulina okutegeka amaka si nnyumba nnene,” Mayiga bw’asabye.
Bino Owoomumbuga abyogeredde ku mukolo gw’okugatta John Muwanga ne Nteganyi Maria mu Ekeleziya ya Munyonyo Martyr’s Shrine e Munyonyo leero ku Lwomukaaga.
Mayiga asabye abavubuka okuwasa n’okufumbiriganwa nga bakyali bato kibataase okutambula kuno na kuli nga banoonya ababeezi ab’okutwala mu maka.
Owek. Mayiga abasabye bategeke ebyo ebiyinza okubawa essanyu era bakole nnyo okulaba nga beetegeka okubaako bye batuukako mu bulamu so si kubalira ku by’abazadde baabwe.
Abawadde entanda beetegekere obufumbo nga bwe beetegekera embaga era n’abasaba okubeera abantu ba Kabaka abeesigika nga bazadde baabwe bwe bali era babulwanirire.
Bw’abadde agatta abagole, Rev. Fr. Henry Kasasa, abakuutidde okukulembeza okwagala era n’abakulisa olw’okutuuka ku kkula lino.
Fr. Kasasa abasabye okumanya nti obufumbo kirabo kya Katonda era bakimanye nti bwa lubeerera era babeeragane mu mbeera yonna okusobola okubutwala mu maaso.
Muwanga mutabani wa Mw. Paul Ssembatya Mulundannume Omumyuka wa Ssentebe wa Buganda Twezimbe.
Omukolo gwetabiddwako, Baminisita ba Kabaka abaawummula okuli; Jolly Lutaaya, Owek Charles Bwenvu, Owek. Sylvia Mazzi, n’abakiise ku Lukiiko lwa Buganda Twezimbe.









