Bya Ssemakula
Kampala
Poliisi y’eggwanga erangiriddde kafyu emisana mu bitundu by’e Kyambogo, Kireka n’ebifo ebiriraanyeewo ng’abeesimbyewo ku bwapulezidenti bagenda okwewandiisa Ssabbiiti ejja.
Kino kiddiridde Omulamuzi era ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama, okulangirira ng’abeesimbyewo ku bwapulezidenti bwe bagenda okuwandiikibwa Ssabbiiti ejja ku Mmande n’Olwokubiri mu kisaawe kya Ssettendekero wa Kyambogo.
Wano poliisi w’esinzidde n’erabula nga bwe batagenda kukkiriza muntu yenna kutaayayiza mu bitundu ebiriraanye ettendekero lino n’ekifo ewagenda okwewandisizza okuggyako eyeesimbyewo n’abawagizi be 10 bokka.
Akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Norman Musinga, ategeezezza nti abantu mu bitundu ebiriraanye Kyambogo baakusigala awaka okutuuka akawungeezi ng’okwewandiisa kuwedde.
Musinga annyonnyodde ng’enguudo ezimu bwe zigenda okuggalwa era ng’abantu basabiddwa obutagezaako kujeemera biragiro bibaweereddwa.
Okusinziira ku Musinga ab’ebidduka abakozesa oluguudo lwa Jinja -Kampala, balagiddwa okuyita ku Old Port bell Road, Spring Road bagwe e Kireka Road, Kinawataka olwo batuuke e Kampala ate abagenda e Jinja bakole kye kimu bagwe e Bweyogerere.
Ekisaawe kya Cricket era awagenda okuwandiisibwa abantu, waakukkirizibwayo; abeesimbyewo, abawagizi abakkiriziddwa akakiiko k’ebyokulonda wamu n’abakungu b’akakiiko bokka.
Abeebitiibwa baakukozesa oluguudo lwa Kyambogo Road era bayitire mu Kyambogo Western Gare okusobola okutuuka aweewandiisizibwa. Era nga tewali muntu yenna agenda kukozesa kitundu kya luguudo lwa Kampala- Jinja wakati wa Spear Motors ne ttawuni y’e Kireka nga teyafunye lukkusa kuva mu kakiiko k’ebyokulonda.
Abo abava mu bitundu by’e Jinja baakuyita ku nkulungo y’e Namboole bayite ku Northern Bypass ate abava mu bitundu by’e Masaka n’oludda olwo baakukyamira Busega ku nkulungo olwo bayite ku Northern Bypass ppaka Kaleerwe olwo beeyongereyo e Jinja.
Poliisi ezzeemu okulabira nga bwe batagenda kukkiriza yeesimbyewo yenna kuyisa bivvulu oluvannyuma lw’okwewandiisa era ng’anaakikola yenna ajja kukolwako.